SSEGIRINYA: DNA ewandudde abaana 14

ENSASAGGE agudde mu ffamire y'eyali omubaka wa Kawempe North, Mohammed Ssegirinya, ebyavudde mu kukebera endagabutonde 'DNA' bwe bifulumye nga ku baana 18 bannamwandu 6 be baasomba ng’afudde, abaana 4 bokka be b'omu ntumbwe ze!

SSEGIRINYA: DNA ewandudde abaana 14
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ENSASAGGE agudde mu ffamire y'eyali omubaka wa Kawempe North, Mohammed Ssegirinya, ebyavudde mu kukebera endagabutonde 'DNA' bwe bifulumye nga ku baana 18 bannamwandu 6 be baasomba ng’afudde, abaana 4 bokka be b'omu ntumbwe ze!
Ssegirinya eyali yakazibwako erya ‘Mr Update’ era nga munnakibiina wa NUP yafa January 9, 2025 n'aziikibwa e Kaddugala mu Masaka wabula waabaddewo okusika omguwa mu ffamire ku nsonga y’abaana abatuufu Ssegirinya be yaleka.
Mu kuziika, abakazi 6 beesowolawo nga buli omu yeeyita nnamwandu ne basomba
abaana era baali baakawera abaana 18, aba ffamire naddala maama wa Ssegirinya, Justine Ssanyu Nakajumba ne mikwano gy'omugenzi batandikirawo okwekengera abamu ku bannamwandu ku baana be baali bagamba nti ba Ssegirinya.
Ekyasinga okwewuunyisa maama wa Segirinya ne mikwano gy'omugenzi ye mu mukazi Nnaalongo Joyce Nalule eyaleeta Bbebi ow'emyezi 9 nga beebuuza engeri Ssegirinya eyali amaze emyaka 2 musibe ng'ali ku bitanda engeri gye yakwana omukazi n'atuuka k’okumufunisa olubuto.
Beewuunya nti bwe babalirira ebbanga kizibu okukkiriza nti Ssegirinya ye yafunyisa omukyala olubuto okuggyako nti bwe guba omukwano omungi, omukyala yaggyibwako enkwasa ne bagimukuba naye nga omubaka ekiseera ekyo teyalina maanyi gabeera na mukyala.
Wakati mu kusoberwa nga ffamire enoonya okuzuula obukakafu ku muwendo gwa baana ba Ssegirinya abatuufu, munnamateeka wa ffamire omubaka wa Busiro East, Medard Sseggona yabawabula nti nga tebannakola kirala basooke atwale abaana ku musaayi babakebere.
Kino nga tekinnabaawo, waliwo okukaayanira ebyobugagga n’abakyala abamu nga basaba babawe obuyambi balabirire abaana kuba tebalina busobozi bubabeezaawo. Eky’okugabana ebintu munnamateeka Sseggona yakiwakanya era n’abamu
ku ba ffamire ne bamuwagira nti tewali akkirizibwa kuweebwa mugabo gwonna okuggyako nga batwaliddwa ku musaayi ne bafuna obukakafu. Wabula abamu ku bannamwandu baakiwakanya nti ebintu ebimu omugenzi yabibawa mu bulamu era tewali akkirizibwa kubibagobamu kuba mwe bagenda okufuna ezirabirira abaana.
Wakati mu kusika omuguwa, ffamire yayimiriza okugaba ebintu n’obuyambi eri abaana n’ekkiriziganya n’okuwabulwa kwa munnamateeka Sseggona nti bonna bagende baggyibweko endagabutonde.
Abakyala 7 bakkiriza ne batwala abaana mwenda. Eyali omuyambi wa Ssegirinya ayitibwa Luwemba Luswa yagambye nti ebyavudde mu kukebera omusaayi byafulumye
ku Lwokutaano buli mukyala ne bibaweebwa. Sseggona yagambye nti buli akwatibwako mu ffamire yakwasiddwa ebyavudde mu musaayi era ne nnyina wa Ssegirinya Nakajjumba yakakasizza ebyavudde mu musaayi. Eyali mukwano gwa Ssegirinya Thomas Bagonya yagambye nti buli ebyavudde mu kukebera omusaayi byakakasizza abaana bana; Sharifah Nagirinya, Shifrah Nagirinya, Ivan Bukenya ne Alia Nagirinya,” Bagonza bwe yagambye.
Yalaze nti abaana ba bakyala abalala okuli aba Imacurate Akandinda abadde addukanya ebimu ku byobugagga by’omugenzi era abadde akulira bannamwandu, omusaayi gwamuwandudde. Eggulo, Bukedde yamukubidde essimu n’agamba nti talina budde bwebyo.
Kyokka maama wa Sharifah Nagirinya, omu ku baana ba Ssegirinya abaakakasiddwa  omusanyi ayitibwa Marriam Nakabuye yagambye nti abasawo, baayambye okusalawo
 ggoye. “Tumaze ebbanga nga ffe abalina abaana abatuufu tetufuna buyambi nga buli  imu kyayimirira.
Abadde kamanda waffe nga y’ali mu bintu era yatubegerako Maama Ibra ate omusaayi gwamuwandudde,” Nakabuye bwe yagambye. Nnaalongo Joyce Nalule yagambye nti ye tannaba kubitegeera kuba teyagenze ku Lwokutaano ku ddwaaliro nga babayise. Wabula
yeewuunyizza engeri abantu Ssegirinya be yaleka nga tabawadde buyinza okutandika okubayingirira nti bakebeza baana musaayi.
“Nasaba Ssegirinya tugende batukebere n’omwana ng’akyali mulamu kyokka n’agaana kati abo batandika batya okutukebera nga tewali wadde ekiragiro kya
 kooti?,” Joyce bwe yagambye. Kyokka n’ategeeza nti agenda kugendayo ku Lwokutaano bamukwase ebibye awo asalewo ekiddako kuba ye amannyo omwana wa
Ssegirinnya era gye beeyagalira tewali yaliwo.
Muganda wa Ssegirinya, Godfrey Bukenya yategeezezza nti byonna byafulumye era Sseggona ne mwannyina Idah Nantongo be babibaddeko ennyo.
Omubaka Ssegirinya yaleka ebyobugagga bitono okuli ettaka e Nakifuma kweyali alundira e Mbuzi. Amayumba e Matugga, amayumba e Namere ku lugenda e Gayaza n’amaka e Kasangati.