Ekyabadde e Ntebe ng’egimu ku mirambo gya Bannayuganda abaafiira e Kuwait gituuka

EMBEERA yabadde ya biwoobe na miranga ku kisaawe e Ntebe ku Ssande ng’egimu ku mirambo gya Bannayuganda 2 abaafiira mu nnabbambula ku kyeyo e Kuwait gikomezeddwawo mu ggwanga.

Abooluganda ku kisaawe e Ntebe nga bakaaba. Mu butono ye Musisi (ku kkono) ne Gitta.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EMBEERA yabadde ya biwoobe na miranga ku kisaawe e Ntebe ku Ssande ng’egimu ku mirambo gya Bannayuganda 2 abaafiira mu nnabbambula ku kyeyo e Kuwait gikomezeddwawo mu ggwanga.
Emirimbo egyakomezeddwawo kwabaddeko ogwa ; Wilberforce Gitta, 28, ow’e Seeta mu Luweero, n’ogwa Esawo Musisi Gaganga, 26, ow’e Kakindu mu disitulikiti y’e Mityana ng’emirambo gyombi gyaleeteddwa mu nnyonnyi ya Ethiopian Airways eyatonnye ku kisaawe ku ssaawa 5:00 ez’oku makya.
Aba Famire abaalindiridde emirambo mu kifo ewatuukira emigugu olwakubye eriiso ku Ssanduuke ne bakuba emiranga. Baalinze okumala essaawa nga bbiri ng’emirambo giyisibwa mu misoso gy’ekisaawe oluvannyuma ne gibakwasibwa ne bagissa mu Ambyulensi. Kenneth Oloka, akulira ekibiina ekigatta Bannayuganda bankuba kyeyo (Kyeyo Initiative Uganda), yategeezezza nti, enteekateeka z’okuzza emirambo gy’abalala zikyagenda mu maaso.
Yagambye nti bakyalinamu okusoomoozebwa ku mirambo gy’abalala okuli ogwa Ian Musiime, ne Harold Kafeero, kubanga gyo gyasiriira nnyo nga kati bakyakola ku byandaga butonde bwabwe, okusobola okugyawula, balyoke bakomezebwewo ku butaka.
Kyategeerekese nti kaawonawo Ahamad Taika, naye akyali mu kkoma, era nga naye abasawo baasabye aggyibweko endaga butonde, oluvannyuma balabe eky’okuzzaako.
Omulala eyafa ye Fred Ndawula nga naye omulambo gwe tegunnakomezebwawo.
Byo eby’okuliyirira ffamire z’abagenzi kigambibwa nti bijja kusinziira ku alipoota ya Poliisi ng’okunoonyereza ekyavaako omuliro guno kuwedde.