TTIIMU ya BUKEDDE ekyaliddeko amasomero agettanira emiko gya Pass PLE egifulumira mu lupapula lwa BUKEDDE buli lwa Mmande n’Olwokuna.
Baakulembeddwaamu omusunsuzi w’emiko gino, Miriam Nambatya, nga baatandikidde ku Kiddawalime Preparatory School e Namungoona gye baasanze abayizi nga bali mu bibiina bakubaganya ebirowoozo ku byafulumidde mu miko gino nga bayambibwako abasomesa baabwe.
Dayirekita w’essomero lino, Mathias Kibuuka yagambye nti, baludde nga bakola ebibuuzo by’okwegezaamu ebibeera mu miko gya Pass PLE ekibakoze obulungi okubeera nga bafulumya abayizi abatuukiridde kuba ebibaamu bikolebwa abakugu.
Yakubirizza abayizi n’amasomero amalala okugyettanira kuba essomero bwe gyettanira emiko gino, giganyulwamu. Yategeezezza nti, bo we batuukira okukola PLE abayizi baabwe baba beeteeseteese ekimala.
Akulira ebyensoma ku Kiddawalime Preparatory School, Martin Okirol, yategeezezza nti, baganyuddwa bya nsusso era buli mwaka bettanira BUKEDDE nga n’omwaka oguwedde, baayambibwa okufuna abayizi ab’obubonero obuna mu bigezo by’akamalirizo.
Abayizi nabo bannyonnyodde engeri gye baganyuddwa mu miko gya Pass PLE era ne bakunga amasomero amalala n’abazadde okugyekwata. Aba BUKEDDE baatuuseeko ne ku ssomero lya St. Jude Primary School e Namungoona nayo gye baasanze ng’abayizi bali mu kukozesa miko gino okusoma.
Abayizi abaabadde abasanyufu, baatunnyonnyodde engeri emiko gino gye gibayambye okutumbula omutindo gwabwe mu by’okusoma era ne bategeeza nti, bagumu nga bagenda kuyitira waggulu mu bibuuzo by’omwaka guno.
Patrick Mubiru, omusomesa ku ssomero lya St. Jude, yasiimye enteekateeka eno era n’ategeeza nti, emiko gya Pass PLE giyambye nnyo abayizi baabwe okulaba nga bongera ku
mutindo gwabwe n’okwejjukanya ebyasomesebwa mu bibiina ebya wansi.
Nambatya, yategeezezza nti, enteekateeka y’okukyalira ku masomero agali mu nkola eno ekyagendera ddala mu maaso n’ekigendererwa eky’okufuna ebirowoozo by’abayizi n’abasomesa ku ngeri Pass PLE gy’abayambye ne we balaba aweetaaga okwongera amaanyi.
Yakunze abalala okumwettanira baganyulwe.