OMWOLESO gw’emikolo n’embaga ggaggadde ogutegekebwa kkampuni ya Vision Group ogwa Bride & Groom gukomekkerezeddwa mu bbugumu wakati mu kuwangula ebirabo, okwolesa emisono n’okuyiga.
Gwamaze ennaku ssatu nga gubadde guyindira mu UMA Multipurpose Hall e Lugogo era aboolesi n’abantu abazze okulaba baagwettanidde mu bungi.
Gwavujjiriddwa amakampuni okuli; Bella Wine, Pepsi ne The Looks Bespoke abasangibwa e Nsambya nga batunga amasuuti g’emikolo agaliko.
Ogw’omulundi guno gwasusse obunnyuvu anti ennaku zonna abaagwetabyemu baazimazeeko nga balambula ebintu ebipya, bawangula ebirabo eby’enjawulo, bayigirizibwa abamanyi ate nga bwe basanyusibwa abayimbi ab’enjawulo.
Abazze baawangudde ebirabo okwabade okugenda okuwummulako n’abaagalwa baabwe mu bifo eby’enjawulo nga byonna bisasuliddwa kkampani ya Vision Group ne banywanyi baayo abavujjirizi b’omwoleso guno wamu naabo abaayolesezza okuva mu midaala egyasobye mu 100.

Faaza Kiibi omu ku baasomesezza ng’abuuza ku baabadde ku mudaala gwa Bella Wine.
Abamu ku bawanguzi kwabaddeko; Justine Nakyingi omusawo okuva mu ddwaliro ly’abakyala e Mulago eyawangudde ‘honeymoon’ ku Entikko Safari Lodge, Prisca Tumuheirwe naye yawangudde ‘honeymoon’ ku La Fang Eco Resort Dolwe, Angella Ninsiima yawangudde essuuti okuva mu the Looks Bespoke, Olivia Makubuya oluwummula ku Entiiko Safaris, Nik Bhagwani ne mukyala we Doreen Bhagwani baawangudde okugenda okuwummulamu ku wooteeri ya Fonti’s e Nakasero ssaako Maria Arinaitwe ne Derrick Luboobi abaawangudde wayini okuva mu Bella Wine.
Abantu ab’enjawulo baasomesezza abazze mu mwoleso okwabadde Faaza Kiibi ng’ono y’omu ku baasinze okucamula abazze bwe yasomesazza ku nneeyisa y’omusajja owa nnamaddala mu maka era olwamalirizza n’asabira abantu omukisa n’okulambula emidaala.
Abayimbi okwabadde Spice Diana, Sophie Nantongo, Vinka ne Chameleone be baayimbidde abantu okuva omwoleso bwe gwatandika. Bebe Cool ne mukyala we Zuena baasomesezza abantu abazze ku ngeri y’okutambuzaamu obufumbo nga basanyufu mu bulamu obulimu okusoomoozebwa.
Emisono egy’enjawulo gy’ayoleseddwa nga gino gy’ayambaddwa abambazi b’emisono bayite ba ‘model’ ab’enjawulo