Omwoleso gwa Bride & Groom gugenda kubeeramu okuwangula ebirabo

KKAMPUNI ya Vision Group efullumya Bukedde etongozza omwoleso gw’ebyembaga n’emisono ogwa Bride & Groom Expo ogw’omulundi ogw’e 14, aboolesi ne basuubiza ebipya n’ebirabo eri abanaagwetabamu.

Don Wanyama ng’ali ne Esther Nakanyiga, kitunzi wa Dairy Land.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KKAMPUNI ya Vision Group efullumya Bukedde etongozza omwoleso gw’ebyembaga n’emisono ogwa Bride & Groom Expo ogw’omulundi ogw’e 14, aboolesi ne basuubiza ebipya n’ebirabo eri abanaagwetabamu.

Omwoleso guno ogusinga obunene mu Uganda gwa kumala ennaku ssatu, era gwakutandika ku Lwakutaano nga June 23 okutuusa nga 25 nga gwakuyindira ku
UMA show Ground, Lugogo mu Kampala.

Gwatongozeddwa eggulo (Lwakubiri) ku Mestil Hotel mu Kampala ng’omukolo gwakulembeddwa akulira kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama ne gwetabwamu ne kkampuni ezigutaddemu ssente kw’ossa banywanyi ba Vision Group.

Wanyama bwe yabadde atongoza omwoleso guno, yeebazizza bonna abazze baguwagira okuva lwe gwatandika okutuusa kati, n’agamba nti Vision Group ng’abategesi abakulu bingi bye bazze bayiga ne babitereeza era omulundi guno abanaagujjamu basuubire bingi ebibadde bitabangawo.

Yagambye nti omwoleso guno guli ku mulamwa ogugamba nti ‘Love in the Details’ ekivvuunulwa nti ‘okwagala mu bujjuvu bwakwo’. Gujja kutandikanga ku ssaawa 2:00 ez’oku makya nga guggalawo ku ssaawa 2:00 ez’ekiro.

Yagambye nti omwoleso guno tegusosola bafumbo n’abatali, gujja kubaamu n’abayimbi ssaako bakkonja, bassenga ssaako bannaddiini nga balung’amya ku nsonga ez’enjawulo.

Yasiimye abeetaba mu mwoleso guno omuli abakola ku mikolo gy’embaga okuli abatunda n’okupangisa ggawuni z’abagole, amasuuti, abakola keeki, abakubi
 , abatimbi, abakola ‘juice’ ne ‘Wine’ n’ebirala byonna ebyetooloolera ku mbaga.

OMWOLESO GWAKUBAAMU OKUWANGULA EBIRABO BULI LUNAKU

Abavujjirizi ne bannamikago ab’omwoleso gw’omwaka guno omuli: Pepsi, Penny Bold Bridal Connections, Twende Uganda eri awamu ne Uganda Airlines, aba Fragolino Wine, aba Jjajja’s Bakes, Serene Beauty wamu ne Mestil Hotel basuubizza ebintu eby’enjawulo eri abanajja mu mwoleso omuli:

Okutwala omugogo gw’abagole abanaawangula e Mombasa mu Kenya banyumirwe obulamu okumala ennaku bbiri ku bwereere, Aba Penny Bold Bridal aboolesa ggawuni z’abagole empya okuva mu Amerika n’e Turkey era bambaze omugogo gw’abagole ogunaawangula mu mwoleso guno.

Aba Pepsi baasuubizza ebyokunywa byabwe omuli sooda n’amazzi amapya aga Aqua Fina ebinaagabulwa ku mbaga y’abawanguzi ssaako okuwangula mu mwoleso
eri abanaagwetabamu.

Ate aba Fragolino Wine bawaddeyo eccupa za Wine eziwera ziwangulwe abanajja mu musomo ssaako okuloza ku wayini ono ow’omulembe okuva e Yitale.

Aba Mestil baasuubizza okusuza omugogo gw’abagole abanaaba bawangudde okumala ebiro bibiri n’okubalabirira byonna ku bwereere.