Omwogezi w'Obusiraamu e Nakawa agugumbudde abazadde abalagajjalira abaana

OMWOGEZI w'obusiraamu mu Nakawa Sheikh Ismail Tomusange agugumbudde abazadde abalagajjalira abaana n'ategeeza nga bano bwebakoze ekinene ku kweyongera kw'obumenyi bw'amateeka mu ggwanga.

Sheikh Ismail Tomusange ng'ayogera
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

OMWOGEZI w'obusiraamu mu Nakawa Sheikh Ismail Tomusange agugumbudde abazadde abalagajjalira abaana n'ategeeza nga bano bwebakoze ekinene ku kweyongera kw'obumenyi bw'amateeka mu ggwanga.Tomusange okwogera bino kiddiridde abazigu abaamuteega ku saawa ssatu ez'ekiro nebamukuba bubi nnyo nebatuuka n'okumuwangulamu amannyo.Ategezezza nti abaana abenyigira mu mize gino babeera bato ddala ababeera bakyetaaga okulunngamizibwa okuva mu bazadde naye olw'okuba nga abazadde besuulirayo gwa anaggamba wesanga nga abaana bafuuse ekizibu.Ayongeddeko abaana baamuteega nebamukuba nga yagenda okudda engulu nga ali mu ddwaliro afuna bujanjabi.Sheikh Tomusange ategezezza nti bwandibadde buvunaanyizibwa bwa muzadde okulunngamya omwanawe okuva mu buto nga amubuulira ku ki ekiktufu ekisaana okukolebwa na ki ekikyamu ky'atalina kukola.Ategezezza nti abaana bangi bafuuse ekizibu mu ggwanga nga batigomya abantu naye nga ekizibu kiva ku kuba nga bazadde baabwe tebaabasabira na kubawonga mu mikono gya Katonda.Asabye abazadde bonna okujjumbira okulambika abaana mu ddiini kubanga omwana yenna nga akuze n'eddiini mu mutima abeerako n'ebintu by'atasobola kukola naddala ebyo ebiweebula n'okwesitaza.