ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti bennyamidde olw’atwala ekitongole ky’ennyonyi mu ggwanga, Jennifer Bamuturaki ne banne okubakandaaliriza ne babatuuza okumala esaawa bbiri nga tebalabikako.
Olwaleero akakiiko kano akakulembera Medard Ssegona (Busiro East) kabadde kalina okuddamu okusisinkana aba Uganda Airline okunnyonnyola ku vvulugu omulala eyalabikira mu alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti omwaka 2023/24.
Ab'akakiiko Abaabadde Balinze Aba Uganda Airlines
Omubaka wa Kasharu South, Nathan Itungo yeewuunyizza butya ekitongole kino bwe kigenda okuddukanya emirimu gye bujja oluvannyuma lwa alipoota okulaga nti ennyonyi ezimu ezaagulibwa zinaatera okuwummuzibwa olwa sipeeya obutabaawo.
Omubaka wa Nakaseke Central, Allan Mayanja agambye nti ng’oggyeeko okuba nti tewali sipeeya wa nnyonyi ezimu, alipoota eraga nga engeri bano gye beeyambisaamu ensimbi ejjudde ebirumira.
Ssentebe w’akakiiko Ssegona ategeezezza nti bano tebalabiseeko wabula nga tebayinza kubaleka kugenda batyo era akalambidde nti balina okulabikako enkya.
Agambye nti bano okwebuzaabuza kivaako ensimbi y’omuwi w’omusolo okugenda etyo etyo kubanga ababaka babeera balina okusasulwa olw’obudde bwe bataddemu wamu n’okulya.
Ssentebe Wa Cosase Medard Ssegona Nga Yeemulugunya Ku Ba Uganda Airlines
Bw’abuuziddwa oba alipoota ya bano enaasomebwa mu palamenti kubanga eyakolebwa ku mulembe gwa Joel Ssenyonyi ye terabikanga okutuusa olwa leero, Ssegona agambye nti ye ku mulembe gwe, alipoota erina okutuuka mu palamenti buli omu n’agisomako.