Omwana abadde atonyezza ekipiira okugoba emisota ateekedde enju omuliro ebintu byonna ne bisaanawo.

Ennyumba ekutte omuliro n’esaanawo

Omwana abadde atonyezza ekipiira okugoba emisota ateekedde enju omuliro ebintu byonna ne bisaanawo.
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Misota #Kipiira #Muliro

Omuliro guno gwakutte amaka ga Juliet Nakandi, omutuuze w’omu Luteeye A mu Tawuni kkanso y’e Kasangati ne gusaanyaawo ebintu byonna. 

Mmotoka za poliisi ezizikiriza omuliro zaagenze okutuuka ng’ebintu byonna bisirisse.

Nakandi yagambye nti emisota gibadde nga gibayingirira kwe kusalawo okunyookeeza ekipiira giveemu eby’embi mu galagi mwabaddemu engoye ng’omwana kwe yatonyezza omuliro mu butanwa omuliro ne gukwata. 

Ebintu byonna byaweddewo nga n’enju yaakuddamu buto okuzimba. Apollo Ariho, kkansala wa Luteete A yagambye nti yasabye abantu obutazannyiza bintu bya muliro mu nju okuli ggaasi, amasannyalaze, ssigiri n’ebirala kuba
kyangu okukwata omuliro abantu ne bafi irwa ebintu n’obulamu. Yagasseeko nti omuliro gwakutte ssaawa emu ey’akawungeezi nga poliisi yatuuse ssaawa 4.00 ez’ekiro nga singa yayanguye, ebintu ebimu byanditaasiddwa.