Omuyizi pikipiki gwe yatuze n'aziikibwa ku Lwokusatu ebigezo bikomyewo ng'ayitidde waggulu! Afunye 18

By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
OMUYIZI Jude Kiweesi eyafudde akabenje ka pikipiki n'aziikibwa ku Lwokusatu ebigezo byagenze okudda enkeera ku Lwokuna ng'afunye obubonero 18 ekyayongedde ekiyongobero n'ennyiike mu bayizi n'abasomesa ba Mustard Seed SSS e Lukaya mu Kalungu gy'abadde asomera.
 
George Wiliam Kateregga addukanya essomero lino ne George Wiliam Bamuje Taata w'omugenzi baategeezezza nti akabenje yakafunidde ku kyalo Kalungi bwe yabadde avuga pikipiki n'agwa omutwe ne guyisibwa bubi.
 
Kiweesi yaddusiddwa mu ddwaliro e Kitovu e Masaka ne bamusindika e Mulago ng'embeera mbi nti gye yafiiridde n'aziikibwa e Lusango mu ggombolola y'e Bukulula.
 
Abayizi abalala abaakoze obulungi ku Mustard Seed SSS, kuliko; Ssewali Chrispus eyafunye obubonero kkumi (10), Kasozi Adnanh 12, Tabiruka Abel 14, Lwegaba Faswiha 17 n'abalala.