OMUZADDE bwe bakamutema nti omwana we alina kookolo, talemwa kusigala mu nnyiike era abamu baggweeramu ddala amaanyi n’essuubi ly’omwana oyo okuwona.
Wabula okusinziira ku Michelle Mugyenyi, maneja avunaanyizibwa ku by’enteekateeka mu kitongole kya Global HOPE (Haematology Oncology Paediatric Excellence) nga kikolagana n’eddwaaliro ly’e Mulago mu kujjanjaba kookolo n’endwadde z’omu musaayi mu baana, abazadde basaaanye bafune ku ssuubi kuba abaana abawona obulwadde buno beeyongedde obungi.
Agamba nti ekikulu kumuzuula mangu, omwana n’atandika ku bujjanjabi. Obukadde bwa doola 15, ze zaafunibwa okuyambako mu kufutiza kookolo ku lukalu lwa Afirika era bano, bayambako mu kujjanjaba omwana azuuliddwaamu kookolo. Baatandika okukolera wansi wa Mulago mu 2019, nga kati baakakola ku ba kookolo 189 nga 163 babawadde eddagala ne bawonera ddala era tebakyalina wadde akabonero ka kookolo kuba baatandika obujjanjabi mangu.
Kok 2
De Wasswa ng'annyonnyola
ENDABIRIRA Y’OMWANA ANAVVUUNUKA KOOKOLO
Fatumah Nakiganda (42) ku Bayitaababiri e Ntebe, agamba nti mu September wa 2018, yazaala omwana naye we yawereza emyezi 9, n’afuna kookolo. Yafunanga ebbugumu eringi ku makya n’akawumgeezi, n’anafuwa ate ng’aggwaamu omusaayi n’amazzi entakera.
Yamutwala mu ddwaaliro ly’omu kitundu wabula ne bamugoba n’amutwala e Mulago ne bamuzuulamu kookolo w’omu musaayi. Kyatwalira abasawo essaawa nnamba, okukakasa taata w’omwana nti alina kookolo kuba ye yali akalambira nti omwana omuto bw’atyo, tasobola kufuna kookolo. Nakiganda agamba nti eddagala lya kookolo, si lyakupapira kuba yasooka n’amala emyezi 10 ng’ajjanjaba omwana we, nga 6 ku gino egyasooka, yagimala ku kitanda e Mulago ng’afuna ‘chemotherapy’ ate emyezi emirala 4 ng’agendayo bugenzi.
Bwe badda eka, kyamwetaagisa okulondoola omwana n’okumukuumirako eriiso. Era, abasawo baamukuutira amwekuumireko okumala omwezi nga tamukkiriza kwetaba mu banne kuzannya kuba yali asobola okufuna obulwadde nga ssenyiga, okuddukana oba okukolola ate ne bisajjula embeera ye.
Abasawo baamukuutira okumuliisanga doodo, emmere n’ebibala ebirimu ebiriisa eby’enjawulo omubiri n’okumuwanga amazzi agawerako. Nga baakava ku kitanda, yasooka kumufumbiranga mmere egonda naddala omuceere n’obummonde n’ebyennyanja nga si bisiike. Bwe yabulwanga ebyennyanja, ng’asekula mukene.
Ne leero akyazzaayo muwala we eri abasawo e Mulago okubabuulira embeera gy’alimu, wabula amaze omwaka ng’avudde ku ddagala n’obujjanjabi bwa kookolo era kati muwala we yeeyagala n’abasawo baamukakasa nti yawona kookolo.
Nakiganda agamba nti omwana okuwona kookolo, olina okukolagana n’abasawo ate ng’oli munyiikivu mu kussa mu nkola byonna bye bakulagira.
KOOKOLO W’ABAANA ABUZAABUZA
Mark Musene ow’e Butalejja, attottola nga bwe yatoba okukizuula nti kookolo y’atawaanya omwana we.
Agamba nti mu August 2020, omwana we yajjirwanga embeera emumalako emirembe n’azimbazimba era n’afuna obuntu mu nkwawa ne mu bulago.
Waayitawo wiiki bbiri, ng’obuntu obwali obutono bugezze okwenkana enkufu ng’afuna n’ebbugumu n’amutwala mu ddwaaliro lya Kampala International Hospital era abasawo ne bateebereza nti yandiba ne kookolo oba TB. Yamalayo wiiki bbiri nga bamwekebejja kyokka ku byombi, tebalina kye baazuula kwe kubasindika e Mulago. Eyo, baddamu okumwekebejja era nabo ne batalaba TB oba kookolo.
Yeeyongerayo mu ddwaaliro e Nakasero ne baddamu okumwekebejja kwe kuzuula nti alinamu kookolo era ne bamuwandiikira ebbaluwa, emuzza mu ddwaaliro e Mulago ne bamussa ku ddagala lya mwaka mulamba era gwagenda okuggwaako, ng’alinawo enjawulo