ABAANA abatagemwangako n’abatamalaayo doozi kikyali kizibu kinene mu bitundu eby’enjawulo ekivuddeko abasawo okweraliikirira naddala ng’endwadde
zeeyongera okuluma abaana.
Disitulikiti y’e Nakaseke y’emu ku balina ekizibu kino wadde nga bano bakitadde ku ηηendo empanvu abazadde ze batindigga okutuuka ku ddwaaliro n’enguudo
embi.
“Nnakoma okugemesa omwana wange asooka nga naakamuzaala mu ddwaaliro ne nnemererwa okumuzzaayo nga sirina ssente za bodaboda.Nkozesa 30,000 eza boda ate enkuba bw’etonnya gujabagira. Era bwe twafuna abasawo ba Amref abaatuleetera obujjanjabi mu kyalo, nakiraba ng’omukisa ogutugwiridde ne ntwala omwana wange ne bamugema era kati ne bwe mba sirina ssente, ntambulawo ne mbagemesa ne
bafuna n’obujjanjabi obulala,” Rebecca Nalubowa e Nakaseke bwatyo bw’agamba.
Peace Katambala e Ngoma agamba nti, alina abaana basatu era tebagemwangako. “Abaana bange ababiri abaasooka nnabeezaalisiza waka ne mu ddwaaliro saalinnyayo. Ate owookusatu baamuzaalisa kuba nnabeeranga kumpi nakalwaliro naye era
omwana tebaamugemerawo ne nzira awaka. Bwe batyo abaana bange bonna bwe mbakuzizza nga tebagemeddwa. Naye mba ndyawo, abasawo ne bayisaamu
ekizindaalo nga batuyita ku ddwaaliro, era abakyalina omukisa okugemebwa kati mbatwalayo ne bafuna eddagala.
EBIREMESA OKUGEMESA ABAANA
Dr. Simon Aliga, atwala ebyobulamu mu disitulikiti y’e Nakaseke agamba nti:
Abazadde abamu bagaana okugemesa abaana abawala ab’emyaka 10 kookolo w’omumwa gwa nnabaana (HPV), nga bagamba nti, baagala kubagumbawaza.
Abantu abamu tebaagala kugemesa baana kuba tebakkiririza mu mpeereza eyo nga
bakyetaaga okusomesa bongere okutegeera obukulu bw’okugemesa
abaana.
Obuzibu obusinga obunene bwa ntambula ku buli luuyi kuba tetulina ntambula zitutuusa mu byalo kubunyisa buweereza eri abaana, ate n’abazadde bakaluubirizibwa okujja mu ddwaaliro okugema abaana. Ebiseera ebisinga tukozesa boda ng’ekitono
olina okusaasaanya 30,000/- okutuuka ku ddwaaliro, abasinga we babiviirako.
Abasawo batono nga bonna tebasobola kuva ku ddwaaliro okugenda mu nsiisira z’ebyobulamu okuyamba abatuuze. Ate n’abasawo b’ekyalo obutasasulwa,
nakyo kibamalamu amaanyi ne batakola bulungi ate nga be batusaggulira abantu naddala nga waliwo okugema okw’ekikungo.
Obufunda bw’ensawo: Eddwaaliro teribeera na ssente zimalakubunyisa buweereza bumala mu bitundu, oluusi weesanga nga batuukayo ne bakolako kye basobodde mu nnaku z’okugema abaana abalala ne bafi kka ate ng’eddwaaliro teririna busobozi
buddayo mwezi oguddako.
Obwavu mu bantu: Okugeza, osanga bamaama ab’ebyalo ng’alina abaana nga basatu abali wansi w’emyaka etaano, nga balina olugendo lwa mayiro 10 okutuuka ku ddwaaliro ekitegeeza nti, alina okukeera n’alutambula okutuuka ku ddwaaliro, kuba
tebalina ssente za bodaboda, ate nga buli mwezi balina okukikola bagemwe okutuusa lwe bamalayo, ze batalina ne babivaako.
Obutamanya: Oluusi omukisa gujja naye ng’ennaku ntono, ng’abakunga abantu tebasobola kutuuka mu byalo kubunyisa mawulire ago ne bafi kka.EKIKOLEBWAWO
“Okujuna embeera eno, Minisitule y’ebyobulamu ngeri wamu n’ekitongole kya
Amref baatukwasizaako ne batuwa eddagala erigema obulwadde mu baana
ekituyambye okubutuusa eri abantu baffe nga tutambulira ku mulamwa ogugamba
nti, “Saving lives and livelihoods.” Era buli mwezi, tulondayo amalwaliro munaana ne tusembeza obujjanjabi obw’enjawulo omuli; okugema abaana, okukebera siriimu, puleesa, n’ebirala.” yongerako nti, obuweereza buno buyambye okugema abaana ababadde tebagemwangako n’okubalondoola bamaleyo ddoozi kubatusobodde okutuuka mu bitundu ebitatuukikamu naddala ebiri ewala n’amalwaliro kuba gwe mulamwa gwa pulojekiti eno ekitusobozesezza okutumbula ebyobulamu mu disitulikiti.
Endwadde ezigemebwa mulimu: Obulwadde bw’ekibumba, poliyo, obulwadde obwa kalaakiiro, omusujja ogwa mulalama oba ogw’okwesika. Obulwadde obw’amamiro, akafuba ne ssennyiga.
Endala kuliko: Ekiddukano ekireetebwa akawuka ka ‘rota virus’, lubyamira, mulangira, omusujja gw’enkaka. Kookolo w’omumwa gwa nnabaana mu bawala ab’emyaka 10 ku 14. Abakyala mu myaka egizaala okuva ku myaka 15 ku 49 n’abali embuto bagemebwa tetenaasi n’obulwadde bw’amamiro (Diptheria). Omusujja gw’ensiri ne Covid