MMENGO esabye abalimi b’emmwaanyi obutaggwaamu maanyi mu kuzirima olwa bbeeyi yaazo eyagudde.
Minisita w’abavubuka, emizannyo n’ebitone, Ssaalongo Robert Sserwanga bwe yabadde atikkula ‘oluwalo’ lwa nsimbi 92,280,420/- olwavudde e Bukulula e Buddu, Ssaabawaali Kasanje, Ssaabagabo Nsangi mu Busiro, Ntenjeru ne Nakisunga ne Kyaggwe, yagambye nti, Mmengo erumirwa wamu n’abalimi olw’ebbeeyi y’emmwaanyi eyagudde.
“Noolwekyo mu kaseera kano alina emmwaanyi ennyingi nga bazigula 1,000/- asingira wala oyo alina entono. Tugende mu maaso, ebbeeyi enkya eyinza okubeera endala,” Sserwanga bwe yasabye.
Bbeeyi y’emmwaanyi esse nga kati kkiro ya kase eri ku 8,500/- okuva ku 15,000/- ate ezitali nkube kkiro eri ku 4,000/- okuva ku 8,000/- emabegako.
Minisita omubeezi ow’amazzi mu gavumenti eya wakati, Aisha Ssekindi n’omubaka wa Kalungu East mu Palamenti, Katabaazi Katongole beebazizza Obwakabaka olw’okulambika abantu ku bulimi bw’emmwaanyi.