AHAMADA Taika awezezza omuwendo gwa Bannayuganda musanvu abaakafi ira mu
muliro ogwakwata ekizimbe mu Kuwait. Akulira ekibiina kya Bannayuganda mu Kuwait, Mariam Namutebi, yategeezezza nti Taika abadde ku kitanda, okuva nga June 1, 2025, omuliro lwe gwakwata emyaliiro ogwokutaano n’ogwomukaaga ku kalina
kwe baali basula. Yafudde olw’ebiwundu by’omuliro eby’amaanyi bye yafuna ku mubiri.
Bino we bijjidde ng’ebiri ku mirambo gy’abaasooka okufa ye gyakazzibwa ku butaka okuli ogwa Wilberforce Gitta, 28, ow’e Seeta mu disitulikiti y’e Luweero, ne Esawo Musisi Gaganga, 26, ow’e Kakindu mu disitulikiti y’e Mityana.