Ensonga lwaki Bp. Banja ayimirizza Ssaabadinkoni Ggita

OMULABIRIZI w’e Namirembe, Moses Banja, ayimirizza Ssaabadinkoni, Ven. John Ggita Kavuma gw’abadde yaakasindika e Kazo okumuggya e Ntebe, n’asindikayo abadde akulira ebyenjigiriza mu Bulabirizi.

Ven. Ggita Kavuma
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMULABIRIZI w’e Namirembe, Moses Banja, ayimirizza Ssaabadinkoni, Ven. John Ggita Kavuma gw’abadde yaakasindika e Kazo okumuggya e Ntebe, n’asindikayo abadde akulira ebyenjigiriza mu Bulabirizi.
Mu bbaluwa eyawandiikiddwa omuwandiisi w’Obulabirizi nga June 27, 2025, Can. Henry Segawa, ku lwa Banja, yasindise Rev. Can. David Mpagi okukuuma entebe y’Obwassaabadinkoni okuva nga July 1, 2025.
Can. Mpagi era abadde Omusumba w’Obusumba bwa Katwe II nga buno Obulabirizi bwategeezezza nga bwe bugenda okufuna Omusumba abubeeramu mu bbanga eritali ggere.
Can. Gitta yasindikibwa e Kazo omwaka oguwedde ng’ava e Ntebe gye baasindika Ven. Can. Kenneth Ssewannyana eyali e Kazo.
Segawa mu bbaluwa yategeezezza nti, Mpagi yategeezebwako ku nsonga ezaavuddeko Gitta okukyusibwa era nti, kino kizze olw’obwetaavu n’embeera ey’ekiseera mu Bulabirizi. Can. Mpagi yaweereddwa obuvunaanyizibwa obukwata ku nsako n’entambula y’emirimu mu Bussaabadinkoni ssaako okukola emirimu gy’Obussaabadinkoni mu bbanga eritali ggere.
EBYALEETEDDE CAN. GITTA EBIZIBU
Ensonda e Namirembe zaategeezezza BUKEDDE nti, ezimu ku nsonga Banja kwe yasinzidde okuyimiriza Gitta, mwe muli ezeekuusa ku ttaka ly’e Jjungo.
Kigambibwa nti, yasala ku ttaka ly’ekkanisa y’e Jjungo, yiika ezigenda mu 20 n’asimbako emmwaanyi, kalittunsi n’okulundirako embuzi n’ente era n’azimbako n’ennyumba y’abakozi, nga tafunye lukusa okuva mu Bulabirizi ng’enkola erambikiddwa obulungi bw’eri.
Ensonga endala eri ku mulongooti ogwasimbibwa ku ttaka ly’ekkanisa St. Mark Namate. Kigambibwa nti, yapangisaako aba kkampuni z’amasimu ne basimbako emirogooti, kyokka endagaano z’okupangisa yaziwandiika nga y’azissizzaako omukono ku lw’Abayima b’ekkanisa ekintu ekikontana n’enkola y’ekkanisa kubanga Abayima b’ekkanisa weebali era babeera Balabirizi bokka.
Omulabirizi Moses Banja yasalawo okumukyusa okumuggya e Ntebe n’amutwala mu Bussaabadinkoni bw’e Kazo, asobole okwetegereza ensonga zino, kyokka era ng’amusabye asooke annyonnyole ku bimwogerebwako bye tukonyeeko waggulu.
Omulabirizi yassaawo olunaku lw’okumutuuza olwa May 11 omwaka guno, kyokka bwe yalemwa okuwandiika ng’annyonnyola ku nsonga zino, omukolo ogwo gwasazibwamu.
Ekyaddiridde kye ky’Omulabirizi okulonda Omusumba w’e Katwe II agire ng’akuuma entebe ya Ssaabadinkoni w’e Kazo okutuusa ng’ensonga zonna zigonjoddwa.
Ensonda ku Bulabirizi zaategeezezza nti, kati ekiddako kya kuyita Ssaabadinkoni ono mu kkooti y’ekkanisa yennyonnyoleko okuva lwe yalemeddwa okukikola mu buwandiike nga bwe yali alagiddwa.
CAN GITTA AYOGEDDE
Canon Gitta Kavuma bwe yatuukiriddwa yagambye nti, ebyakoleddwa bya kwonoona linnya lye nti, yezza ettaka ly’ekkanisa ery’e Jjungo. Yannyonnyodde bw’ati:
“ Ettaka eryogerwko nze nnalizuula ng’Obulabirizi tebulimanyi okuviira ddala mu mwaka gwa 1926. Ettaka lino eriweza yiika 17, lyali lyesenzaako abantu ab’enzikiriza ez’enjawulo era bonna ne tubaggyako mu butongole ng’ekkanisa era ebiwandiiko weebiri.
Olw’okubanga nnakozesa ssente zange ate nga nnazeewola mu Bbanka nnasalawo okusimba ku ttaka lino kalittunsi n’emmwaanyi wabula ng’ebiwandiiko byonna biraga nti, ettaka lya kkanisa.
Ku ky’omulongooti ku ttaka ly’ekkanisa enkiiko zonna zaatuula ne biteekebwa mu buwandiike era ssente ezivaamu zirambikibwa kye zaakola ku ntandikwa n’okutuusa kati Obussaabadinkoni, Obulabirizi wamu n’Obussaabalabirizi baliko omutemwa gwe bafunako ogulambikibwa mu mateeka.
Yayongeddeko nti, abamwonoona bamukonjera n’eky’okuzimba ennyumba ya Ssaabadinkoni ey’Obussaabadinkoni bw’e Kazo mu ngeri enkyamu, ekintu ekitali kituufu kubanga ennyumba okutuuka okuzimbibwa yayise mu mitendera egyetaagisa.
Yagambye nti, kyannaku okulaba nga waliwo abantu abeefunyiridde okuttattana erinnya ly’akoleredde obulamu bwe bwonna.
Rev. Can. Henry Segawa, omuwandiisi w’Obulabirizi bw’e Namirembe bwe yatuukiriddwa okubaako ky’atangaaza ku nsonga zino, teyakutte ssimu.
Wabula ensonda okuva ku Bulabirizi e Namirembe zaategeezezza nti, Can. Gitta Kavuma yabadde yalagiddwa okugenda mu ofiisi y’omuwandiisi w’Obulabirizi ku ssaawa 8:00 olweggulo ku nsonga ezo.