Amawulire

Omuwendo gw'abaana abakonziba mu Uganda gutiisizza minisitule by'ebyobulamu ne UNICEF

MINISITULE y’ebyobulamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku baana munsi yonna ekya Unicef  balaze okutya olw’omuwendo gw’abaana abakonzibye oguli wagulu.

Aba ministule nga balaga lipoota ku ndya embi
By: Nsimbi Ponsiano, Journalists @New Vision
MINISITULE y’ebyobulamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku baana munsi yonna ekya Unicef  balaze okutya olw’omuwendo gw’abaana abakonzibye oguli wagulu.
 
Bino bibadde ku mukolo ogw’okutongozza kampeeyi y’okulwanyisa endya embi mu baana ku kitebe kya minisitule y’ebyobulamu e Wandegeya mu Kampala nga minisitule ekikiriddwa ddayirekita genero Dr.Charles Olaro n’abakungu abalala ate Unicef yakikiriddwa akulira eby’endisa Zakaria  Fusheini.
 
Kampeyini eno yakutambulira ku mulamwa ogugamba nti ‘’ Endya ennungi mu bantu bonna’’ ng’ayakubunyisibwa nga beeyambisa emikutu gy’amawulire egy’enjawulo egikulembeddwamu aba kkampuni ya Vision Group nga bali wamu ne UKaid, ofiisi ya Katikkiro wa Uganda.
 
Dr.Olaro asinzidde wano n'ategeza ng’abaana obukadde 2 ,nga by’ebitundu 26 ku 100 bwe bakonzibye olw’endya embi mu ggwanga , ng’emitwalo 23, abakola ebitundu 3 ku 100 batono nnyo bwogeregeranya n’obukulu bwabwe nga betaaga okufiibwako mu bwangu.
 
Kuno kw’ogatta  abaana emitwalo 23, abali wakati w’emyaka 5-19 balina omugejjo ogutakwatagaana na myaka gyabwe nga kino abakugu bakitadde ku ndya embi ne n’eyisa,era balabudde abazadde okwegendereza emmeere gye bawa abaana baabwe.
 
Dr.Olaro agambye nti okunoonyereza kwe bakoze kulaga nti omuwendo guno guvudde ku bbula ly’emmeere mu bitundu ebimu,obutamanya n’eneyisa y’abazadde naddala bamaama abatayagala kuyonsa.
 
‘’Ennaku 1000 ezisooka mu bulamu bw’omwana zikola kinene ku nkula ye n’enkulakulaana y’eggwanga ’’ Dr.Olaro bwategeezezza
 
Ategeezezza nti bwerutukidde leero nga Karamoja,enkambi z’ababundabubunda n’ebitundu bye Tororo ye wasinga abaana abakonzibye yadde nga Tororo erina emmeere nyingi .
 
Akulira eby’endisa mu Unicef Zakaria Fusheini agambye nti kempeeyini eno egidde mu kiseera ekituufu  ng’abaana bangi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo naddala mu byalo bakozibye olw’endya embi ekikosa n’okusoma kwabwe.
 
Agambye nti yadde ebitundu ebimu nga Tororo birina emmeere emala naye abaana bakonzibye olw’obutamanya bwa bazadde.
 
Asabye abazadde bonna abalina abaana abali wansi w’emyaka ebbiri okufuba okulaba nga buli lunaku babaawayo wakiri eggi limu.
 
Amyuka kamisona avunaanyizibwa ku by’endisa mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Samalie Namukose agambye nti eby’endisa nsonga nkulu nnyo kubanga tekikoma ku byabulamu wabula kizingiramu n’enkulakulaana y’eggwanga.
 
Alambuludde ebivaako okukonziba kw’abaaana okuli endya embi n’obutamanya mu bazadde ,enkykyuka mu mbeera y’obudde,okulinya kwe bbeeyi y’emmeere n’ebiralala.
 
Abakugu okuva mu minisitule y’eby’obulamu ne Unicef balaze ebirina okukolebwa okumalawo ekizibu kino okuli;
Bamaama abali embuto n’abayonsa okulya emmeere ezimba omubiri kiyambe abaana okukula obulungi.
 
Baama okujjumbira okuyonsa abaana okumala emyezi mukaaga n’okubawa emmeere ezimba omubiri naddala mu nnaku 1000 ezisooka ku bulamu bwabwe.
Okuteeka abaana abali wansi w’emyaka ebbiri ku mmeere ejjudde ebirungo ebizimba omubiri.
 
Gavumenti okwongera ssente mu by’endisa n’endabirira y’abaana ate na buli muntu okukola obuvunaanyizibwa bwe mu kulwanyisa endya embi.
Amassomero okunyikiza enkola y’okuwa abaana emmeere ezimba emibiri n’okutandikawo enimiro z’enva
Tags: