ABALIMI b'omuceere n'obulo mu bitundu ebyenjawulo okuli Butaleja ne Bugweri bakubiriziddwa okwettanira okulima omuceere wamu n'obulo obw'omutindo omulungi ng'enteekteeka eno ekulembeddwamu ekitongole kya Food and Agricultural Organisation (FAO ) .
Enteekteeka eno etuumibwa The Fao -China South -South Cooperation Project (SSC) era ng'etuuse ku nkomererero oluvannyuma lw'okutandika mu 2012 mu mitendera esatu okwetoolola districts ez'enjawulo okuli Mbarara , Jinja , Butaleja, Bugweri Luwero n'awalala .

Abamu ku balimi b'omuceere mu bitundu bye Butaleja
Omwaka 2023 July enteekateeka y'okulima omuceere guno ogumanyibwa nga Hybrid Rice WDR-73 etekebwamu amaanyi ekitongole kya MAAIF wamu ne FAo okuli mu Shanghai Research Institute e China mukaweefube wokulaba nga abalimi basobola okulima omuceere ogusobola okuguma awatali mazzi kwosa n'okuyamba abalimi okufuna ensimbi .
Ms. Makiko Taguchi okuva mu FAO agambye nti omuceere guno mulungi nnyo kubanga abalimi bakusobola okufuna emmere y'omuceere ate n'abantu bakusobola okutunda bafune ensimbi .
Ono agambye omuceere guno tegulina bukwakulizo bungi wabula kusimba bulungi mu mpaanyi ate tegwetaga kukulira mu mazzi mangi .
Robert Sagula omulimi w'obulo n'omuceere agambye nti kirungi okufuna obulo buno natandika okubulima nga kati ewaka balina eky'okulya ate batundako ekintu ekirungi .
Ono agambye nti obulo buno bukula mangu , bwengera mangu ate buwooma n'olwekyo akubiriza abalimi okubwetanira .

Matiko Taguchi omukungu we Kitongole Kya FAO nga alaga ekika kyomuceere ekipya mu bitundu bya Butaleja
Samuel Muloma okuva mu MAAIF akubirizaz abalimi okwettanira okulima omuceere gwa Hybrid kubanga mulungi , gukula mangu era nti mu yiika omulimi asobola okufunamu kinene ate guvaamu akawoowo akalungi .
Ono agenze mu maaso n'agamba nti kyetaaga onsigo y'omuceere eno yetaaga okutuuka amangu e Butaleja abantu basobole okugulima ate tegwetaaga mazzi mangi nnyo , wetaaga okugusimba mumpanyi .