Amawulire

Omukyala eyagamba bba okufuna omukazi omulala bimutabuseeko

Ekyalo kyekuluumuludde okujja okutuula mu nsonga za Ssalongo ow'emyaka 64, eyasibira Nalongo ebweru, n'agenda n'omukyala omupya.

Nnaalongo ne ssaalongo abafunye obutakkaanya
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision
Ekyalo kyekuluumuludde okujja okutuula mu nsonga za Ssalongo ow'emyaka 64, eyasibira Nalongo ebweru, n'agenda n'omukyala omupya.
 
Wabula Nalongo 73, yejjusizza nti yagondera nnyo omusajja n'atuuka n'okumunoonyeza omukazi ow'okubiri nti asobole okuzaalira Ssalongo abaana abalala wabula omugole bweyafuna olubuto beegatta ne Ssalongo ne baliisa Nalongo akakanja.
 
Nalongo Irene Nakiwunga yagattibwa mu bufumbo obutukuvu ne Ssalongo Zadooki Sseng'endo mu 1986 wabula nga Nalongo yajja n'abaana bana olwo n'ayongerako abalala bana ewa Zadooki nga kuliko n'abalongo wabula omu yabuuka.
Nnaalongo en Ssaalongo ne bagattibwa mu 86

Nnaalongo en Ssaalongo ne bagattibwa mu 86

 
Bano batuuze mu zooni ya Mwoloola mu Kangulumira town council council mu disitulikiti y'e Kayunga.
 
Nalongo yekubidde enduulu ewa Collins Kafeero nga alaba ekiyumba ky'asulamu kigenda kumugwira era ne Kafeero yagenze ku kyalo n'alagira Ssalongo aggulire omukazi enyumba.
 
Ssalongo yanonye ebisumuluzo gy'abadde yabikweka olwo n'agfulawo enyumba ekitundu ne kisaanikirwa emizira okuva mu batuuze nga bayozayoza Nalongo okuwona omuggalo.
 
Ssalongo awadde ensonga nti naye tamanyi ddalu lyatemba Nalongo kubanga omugole bweyatuuka Nalongo yeyimbamu omuguwa yette era wano Ssalongo yasalawo amugobe nga tayinza kubeera kubeera na muntu yegezezzaamu muguwa kyokka Nalongo bweyalemerawo, olwo Ssalongo kwekusibawo enyumba n'akwata mugole we ne bagenda.
Abantu nga bakung'aanidde mu maka ga Nnaalongo ne Ssaalongo

Abantu nga bakung'aanidde mu maka ga Nnaalongo ne Ssaalongo

 
Nalongo agamba nti Ssalongo bweyaggalawo enyumba yasula ku lubalaza nga alowooza nti aneekuba mu kifuba era ebbanga bwe lyayita abatuuze baamuyambako ne bazimba ekiyumba eky'akadongo era mw'asula kati emyaka gikunuukirizza 10 era nti ennaku gy'alabye eyoza lumonde.
 
Ssalongo agambye nti Nalongo yasooka n'anoba n'agenda afumbirwa omusajja omulala wabula oluvanyuma omusajja oyo n'afa, ekintu Nalongo ky'awakanyizza nga agamba nti ye tafumbirwangako.
 
Kafeero asabye Nalongo ne Ssalongo basonyiwagane byonna byebayiseemu, badde bumu era buli omu alabirire munne.
 
Kafeero agambye nti amaka gano bombi bagalinako obuyinza n'olwekyo Ssalongo abakazi abalala b'agenze awasa abategekere ebintu ebyabwe so ssi kubanyiga mu bya Nalongo.
Tags: