MUNNAMATEKA Hassan Male Mabirizi awawabidde omulamuzi ali mu musango ggwe Ritah Neumbe Kidasa n'omuwaabi wa government Richard Birivumbuka.
Mabiriizi okuggalawo emisango ku babiri bano wamu na'balala ayagala kkooti emuyimbule awatali kakwakulizo konna oluvannyuma lw'okukulunga ennaku ezisoba mu 60 eziragirwa ssemateeka w'eggwanga nga kkooti tenatandika kuwulira omusango guvunanibwa omusibe.
Ensonga endala gyeyawadde kwekuwakanya
omulamuzi ono mu ngeri gyawuliramu omusango guno erimu kyekubira okuwulira ate omuwaabi wa government amulanga kumuggulako misango gyegimu egyasazibwamu kkooti etaputa ssemateeka nga eyita mu teeka lya erifuga enkozesa yebyuma bi kalimagezi li "Computer Misuse act".
Mabirizi yategeezezza kkooti nti yaggulwako emisango nga February 2,2026 nga kati yakakulubgula ebbanga lya nnaku 60 nga ali ku alimanda wabula nga tawozesebwanga nga ssemateeka bwalagira.
Wano weyasabidde omulamuzi ali mu musango guno okuyimbulwa bunnambiro awatali kakwakulizo kona.
Omulamuzi yategeezezza Mabirizi nga bwatasobola kuwuliira kusabakwe kwa kuyimbulwa awatali kakwakulizo mukiseera kino olw'ensonga nti yatekayo okwemulugunya nga ayagala mu musango guno nga gwalina okusooka okuwuliira.
Mabirizi mukiseera kino yataddeyo emisango 7 gyawawabidde nga asinziira mu kkomera e Luzira nga awakanya emisango ejjamuggulwako era nga ayagala kkooti emuyimbule atambule alye butaala oludda oluwaabi kyerutakiriziganya nakyo.
Bino webigidde nga Mabiriizi yaggulwako emisango gyokukozesa omutimbagano okuyisaako obubaka obuvuma wamu nokuvvola Ssabalamuzi w'eggwanga Dr Flavian Zeija wamu n'omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Musa Ssekaana nga bwebali abafere bino nga yabikola nga talina ebiwandiiko ebimukkiriza okuddukanya mukutu ogwo.
Omulamuzi yayongezezaayo omusango guno okutuusa nga April 29,2026 era namulagira okuddizibwayo mu kkomera e Luzira.