Amawulire

Poliisi ekutte abantu 9 mu bubbi bwa Boda-boda e Wakiso

POLIISI ye Wakiso ekoze ekikwekweto mwekwatidde ababbi ba booda booda 9 n'ezimu ku ppiki- ppiki zebabba ne bazitemamu ne sipeeya era zino zonna poliizi yasobodde okuzinunula gye babadde bazikwekwa.

Abagambibwa okubba boda-boda nga batuusibwa ku Poliisi
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision
POLIISI ye Wakiso ekoze ekikwekweto mwekwatidde ababbi ba booda booda 9 n'ezimu ku ppiki- ppiki zebabba ne bazitemamu ne sipeeya era zino zonna poliizi yasobodde okuzinunula gye babadde bazikwekwa.
 
Abaakwatiddwa kuliko Ashim Bukenya Ashim ng’era mwokyi wa byuma, Dennis Mutebi nga naye ayokya ebyuma, Tonny Senono nga makanika, Salim Katongole omuzimbi, Brian Mutesasira nga naye makanika, ne Alex Wampande atunda sikulaapu.
Piki-Piki nga zimaze okumwe sipeeya

Piki-Piki nga zimaze okumwe sipeeya

Abalala ye Farick Kiweewa nga naye makanika, Sulaiman Lukenge omuvuzi wa booda ne Joseph Muganwa nga naye muvuzi wa booda era ng’okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala, bano bakumibwa ku poliisi e Wakiso.
 
Kawala yategezezza nti poliisi okukola ekikwekweto kino, kyaddiridde omu ku babbiddwako booda okuddukira ku poliisi ng’agamba nti nga April 13, 2026 ku ssaawa 2;oo ez’ekiro yabbiddwako booda booda ye nnamba UMA 594BT ku kyalo Nalya Nansese mu ggombolola ye Muduuma mu disitulikiti ye Wakiso.
 
Yayongeddeko nti ekikwekweto kino kyayindidde mubitundu bye Kikaaya mu disitulikiti ye Wakiso era nga piki piki eyabbibwa UMA 594BT nendala ssatu okuli UEW 155H, UEK 013F, ne UER 546H zonna ekika kya Bajaj Boxer nazo nezisangibwa gye baabadde bazikukumye.
 
Bukenya omu ku baakwatiddwa era nga mwokyi wa byuma, yasangiddwa ng’ajja number plate ku piki piki UMA 594BT era ng’ayagala kutekako endala olwo ereme kutegerekeka eri banyiniyo.
Omu ku sipeeya wa Piki-Piki ezibbibwa

Omu ku sipeeya wa Piki-Piki ezibbibwa

 
Ekikwekweto kino kyaakulembeddwa akulira ebikwekweto ku poliisi e Wakiso, Benard Ogang ng’ayambibwako abaserikale abalala era nebafuuza nemubitundu bye Gombe gye baasanze booda endala ng’epanguluddwa mubitundutundu.
 
Akulira ebyokwerinda mu kitundu kya Gombe e Wakiso, Patrick Sekatawa yannyonnyodde engeri gye baagudde kumuvubuka Muganwa nebatuuka n’okukubira poliisi ebayambeko.
 
Yategezezza nga bwebagenda okwongera okukwatagana ne poliisi okulaba nga buli mubbi wa piki piki gwe bakwata bamuwaayo ssaako okufuuza abo abatuuze abatamanyikiddwa mukitundu
Tags: