BAMALAAYA abakolera ku Mabiito e Nateete Kasitoma (Omusajja) abatabudde ne balwana omu afumise munne ffoko mu bulago naye mu kwerwanako n'amulumako engalo n'agiwanda ebbali, gwe baafumise addukidde mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo okumutaasa.
Mu maaso g'Omulamuzi Adams Byarugaba, beeyogeredde amafuukuule ne batuuka n'okwerangira eby'ebuziba okutuusa omulamuzi bw'abazizza mu nteeko eyafumise n'asindikibwa mu kkomera e Luzira.
Judith Kiiza y'awazewaze munne bwe bakola ogufaanagana Amina Nalumu bw'atyo mu kkooti e Mengo ng'amulanga kumukuba n'amutuusaako obuvune obwamaanyi olw'okuba omusajja yali amuguze ate naye n'amugula.
Nalumu olw'obusungu yakwata ffoko gye yali aliisa emmere n'agisogga obulago bwa Kiiza oluvannyuma n'abaka ekiso n'amugoba kumpi Mabiito yenna ng'amulanga kwebaka na Kasitoma we.
Ono kino tekyamumalira yamukomekkereza ebigambo ebimutiisa okukamala n'amusuubiza n'okumugoba mu kifo we bakolera mu ngeri y'okumusindiikiriza ng'ekyonziira.
Nalumu mu kkooti yeewozezzaako ng'agamba nti baalwanira musajja n'agitegeeza nti Judith oyo yamusiiga ne siriimu bwe yamulumako engalo nga balwana n'alaga Omulamuzi amakerenda ga mukenenya g'amira.
Judith yamwambalidde ng'awakanya eky'okumusiiga siriimu nga bw'agamba nti ye nga tamulina era kisoboka kitya okumumusiiga n'ategeeza nti bino byonna abyogera kwewonya kkomera.
Ekituufu engalo ya Nalumu yakutukako ekitundu kyokka Judith yajukizza kkooti nti guno si gwe mulundi gwabwe ogusooka okwatika era gyebuvuddeko mu 2024 baalwana ne munnaabwe omulala Janat Namugga nga ye yagiruma era ku olwo baasibira mu kkomera bonsatule.
Judith yagambye nti kirabika Namulu okuva olwo amulinako ekkonda ku mutima kuba ne lwe baava mu kkomera yasigala amukomekkereza nga yeewera okumutuusaako obuvune okutuusa March 31, 2026 bwe yakimukoze bwe baabadde beekolera egyabwe ku Mabiito.
Nalumu omusango gwamusse mu vvi kyokka ne yeekuba mu kifuba nga bwe yeegayirira Judith amusonyiwe kuba bonna bakola omulimu ogufaanagana waakiri amujjanjabise basigale nga bayiiyiza abaana baabwe eky'okulya.
Judith yakombye kw'ebaza eriibwa nti talina ky'ayagala kirala kuba ye alina obusobozi obwejjanjabisa n'akalambira bamusindike mu mbuzi ekogga awo anaafuna w'anywera ku mazzi.
Omulamuzi Adams Byarugaba yasindise Nalumu ku limanda e Luzira okutuusa nga April 21, 2026 lw'anaamusalira ekibonerezo