Omuwendo gw'abaagala obwa Pulezidenti bwa Uganda gweyongedde

OMUWENDO gw’abeegwanyiza obwa pulezidenti gweyongedde okulinnya okuva ku bantu 51 abaggyeyo empapula z’okunoonya emikono ku Mmande nga kati basoba mu 80

Abaagala okwesimbawo ku bwa Pulezident i nga baggyayo empapula
By Nsimbi Ponsiano
Journalists @New Vision
OMUWENDO gw’abeegwanyiza obwa pulezidenti gweyongedde okulinnya okuva ku bantu 51 abaggyeyo empapula z’okunoonya emikono ku Mmande nga kati basoba mu 80
 
Ku baggyeyo empapula leero kuliko Ying.Willy Mayambala eyavuganyako mu kalulu ka 2021, omusomesa wa university James Mubangizi,badookita babiri okuli Dr.Milton Mutto ne Dr.Deo Kizito Lukyamuzi. 
 
Abala kuliko;musaayi muto Vonitor Nassanga 20, omuyizi ku KIU,Henry Bbira Kisaakye 30 ow’ekisinde kya Republican Front,Santa Acayo 43, Nathan Ssekyanzi 24, Arafat Nambasi 28, Usaama Ssemogerere 40, James Mubangizi 45, Godwin Birungi30, Deogratious Akampulira,Pr.Joseph Kirunda 44, Peter Mutebi36, Abel Taremwa43, Susan Kwagala 40, Emmanuel Mubangizi 25 n’abalala.
 
Omwogezi w'akakiiko k’ebyokulonda Julius Mucunguzi agambye nti amateeka gakkiriza buli munnayuganda aweza emyaka 18 okuvuganya ku kifo kyonna navumirira abakolota abavubuka abeetanidde okuggyayo empapula z’okunoonya emikono ku ky’ovuganya ku bwa pulezidenti.
EC ng'esunsula abaagala obwa Pulezidenti

EC ng'esunsula abaagala obwa Pulezidenti

 
Alabudde abaggyeyo empapula okunoonya emikono egitafanagaana nagya bantu balala beegwanyiza kifo kino kubanga kano keekamu ku bukwakulizo akali mu tteeka akatunulirwa nga basunsula abanavuganya. 
 
Akubirizza bannayuganda mu bitundu by’Eggwanga byonna okukolegaana obulungi  n’abanoonya emikono kubanga kye bakola kiri mu mateeka era nakubirizza abavubuka bonna abaggyeyo empapula okugoberera amateeka ate n’okukuuma emirembe nga banoonya emikono.
 
Ebisanyizo ebirala abavuganya bye balina okubeera nabyo kuliko obuyigirize obutaka wansi wa S.6, emikono 100 egy’abalonzi abamusemba okuva mu buli disitulikiti nga zino terina kuka wansi wa 98 ku 146, bye bitundu 2/3, abagala okuvuganyiza mu bibiina ebyawandisibwa mu mateeka balina okubeera ne baluwa okuva ewaba ssabawandisi b’ebiina byabwe.