ABAANA babiri abooluganda ababadde bali mu kulunda embuzi, eggulu libakubye , bombi ne bafiirawo.
Abafudde, ye Demus Tugabiirwe 14 ne Triva Twinomugisha 12 nga babadde babeera ne bazadde baabwe e Kinogo cell mu Kishabya ward Shuuku town council mu disitukiti y'e Sheema.
Kigambibwa nti eggulu, libakubidde Kisizi Central . Babadde bayizi mu ssomero lya St. Charles Lwanga P/S e Shuuku.
Akola nga omwogezi wa poliisi mu Greater Bushenyi, era nga ye mutabaganya wa poliisi n'omuntu wa bulijjo Apollo Tayebwa, agambye nti emirambo, gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro lya Kabwoohe Health centre IV , okwekebejjebwa.