EMMUNDU emu n'essasi limu, bizuuliddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amagye e Kotido.
Ekikwekweto ekiruubirira okuleeta emirembe mu kitundu n'okulwanyisa obubbi bw'ebisolo, kikyagenda mu maaso , okulaba ng'abatuuze bafuna emirembe.
Emmundu eno ey'ekika kya SMG, nnamba 08403, ezuuliddwa ku kyalo Naryamatolim e Kotido nga kigambibwa nti bagisanze ne Apalokol Ilukol.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Mt Moroto / ASTU Mike Longole , basuubira nti emirembe gyakuddamu okubeerawo mu kitundu ekyo.