POLIISI y'e Nakasongola ekutte abantu bataano abagambibwa okupangisa mmotoka okuva mu ppaaka ya loole e Bwaise ne beefuulira ddereeva ne gwe yabadde naye ne babafumita ebiso ebyabasse nga baatuuse ku kyalo Bujaabe mu ggombolola y'e Nakitoma mu Nakasongola.
Abdul Kitandwe nga ddereeva mu kampuni ya Jambo esangibwa mu kibuga Arua ne Hellen Ambu emirambo gyabwe gyasangiddwa gigangalamye ku kkubo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu okwolekera Kafu nga giriko ebiwundu.
Mmotoka abazigu gye baapangisizza
Abaakwatiddwa mulimu; Eliezer Nkubi, Julius Serunjogi, Meddy Kigozi, Ibrahim Mulepa ne Arnold Lubega so nga abalala babiri abadduse bayiggibwa.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti abakwate Serunjogi ne Kigozi eggulo limu baatuukiridde Yusuf Mugisha mu paaka ya loole e Bwaise abapangise mmotoka ye batikke ssukaali okuva ku yaabwe eyabadde efiiridde ku kkubo.
Loole nnamba UA871AA yabaweereddwa n'omuvuzi waayo ne bessa mu ddene kyokka bwe baatuuse mu kkubo ne beefuula.
Poliisi yatemezeddwako n'etaayiza n'ekwata abantu bano abaabadde babulawo ne loole bbiri ezaabadde zitisse ssukaali.
Twineamazima yategeezezza nti mu mmotoka y'omugenzi mwasangiddwamu akaso akaabadde kabunye omusaayi ssaako amatondo g'omusaayi.
Emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Nakasongola okwongera okugyekebejja nga bwe bagiggyako endagabutonde ezikwasaganye n'omusaayi ogwasagiddwa mu mmotoka ne ku kiso n'okunoonyereza ku ssukaali gye yabadde atwalibwa.