Abazigu bafumbiikiriza omuwala nnyina gw'abadde alese mu nju ne bamusobyako ne bamutta

ABANTU abatannamanyika , bafumbiikirizza omwana omuwala ow'emyaka 16 ne bamusobyako n'oluvannyuma ne bamuttira mu nnyumba ne babulawo.

Abazigu bafumbiikiriza omuwala nnyina gw'abadde alese mu nju ne bamusobyako ne bamutta
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Bazigu #Nnyumba #Kusobya

ABANTU abatannamanyika , bafumbiikirizza omwana omuwala ow'emyaka 16 ne bamusobyako n'oluvannyuma ne bamuttira mu nnyumba ne babulawo.

Ettemu libadde ku kyalo Nakigando East LC1  mu muluka gw'e Kijumba mu ggombolola y'e Kiyuni mu disitulikiti y'e Mubende, bwe basse Juliet Nalubombwe 16 oluvannyuma lw'okumusobyako.

Kigambibwa nti nnyina w'omwana , yamuleseewo ng'aliko gy'agenda nti era nga mu kiseera enkuba we yatonyedde, abantu abatannamanyika ne bamufumbiikiriza mu nnyumba ne bamusala obulago ne bamutta.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Racheal Kawala, ategeezezza nti nnyina yagenze okudda , yasanze omulambo mu kitaba ky'omusaayi , kwe kuyita poliisi n'egutwala mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mubende ng'omuyiggo bwe gugenda mu maaso.