POLIISI e Kabaale, eri mu kunoonyereza ku ngeri omutuuze ow'emyaka 24 gy'attiddwamu, omulambo gwe ne bagusuula ku mabbali g'oluguudo.
Timothy Kamugisha 24, omutuuze w'e Kabale, omulambo gwe, gusangiddwa mu Igabiro Cell e Mwanjara ward mu Southern Division e Kabale.
Kigambibwa nti omugenzi yasoose kubaako gy'anywera omwenge n'atamiira nnyo nti oluvannyuma n'agenda ku bbaala ya Dorcus Akampulira Bar ng'eno baamusitudde ne bamussa ku lubalaza ne baggalawo.
Kitegeezeddwa nti enkeera, baasanze mulambo ku mabbali g'oluguudo gye guggyiddwa ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Kabaale, ng'okubuuliriza kugenda mu maaso okusinziira ku mwogezi wa poliisi e Kigezi ekyo, Elly Maate.