Omuwala eyateeberezza bba okuba omwenzi atuze omwana gwe yeezaalira naye ne yetta

Abatuuze b’oku kyalo Nansana - Gganda baguddemu ekyekango oluvannyuma lw’omuwala atemera mu gy’obukulu 21 okutuga omwana we gw’azaala ow’emyezi 9 oluvannyuma naye ne yeggya mu bulamu bw’ensi lwa kuteebereza bba nti mwenzi.

Omuwala eyateeberezza bba okuba omwenzi atuze omwana gwe yeezaalira naye ne yetta
By Julius Kiguli
Journalists @New Vision
#Amawulire #Julius Kiguli #Mwenzi #MuwaLA #Nansana #Gganda #Ttemu

Abatuuze b’oku kyalo Nansana - Gganda baguddemu ekyekango oluvannyuma lw’omuwala atemera mu gy’obukulu 21 okutuga omwana we gw’azaala ow’emyezi 9 oluvannyuma naye ne yeggya mu bulamu bw’ensi lwa kuteebereza bba nti mwenzi.

Kemigisha eyesse.

Kemigisha eyesse.

Abagenzi kuliko Shafa Kemigisha ow’emyaka 21 ne Amir Nampeera ow’emyezi 9 nga bano babadde batuuze b’e Gganda Nansana era nga abatuuze okutegeera nti yesse n’atta ne bbebi we kiddiridde bba ategeerekeseeko erya Kiggundu okudda ku mizigo mwe babadde basula n’anoonya mukyala we nga tamulaba olwo n’ayita balirwana abakebedde mu nju mw’abadde yeesibidde nga omulambo gwe gulengejja.

Okusinziira ku balirwana, omugenzi nga tannafa baasoose kuwulira mwana ng’akaaba okumala eddaki 30 wabula oluvanyuma n’asirika era nga baasanze omulambo gw’omwana agusibidde mu kkeesi y’engoye.

Kiteberezebwa nti omwana yamusibye obuveera n’afuna ekiziyiro. Balirwana baategeezezza nti omukyala ono abadde n’ebbuba lingi nnyo nga buli kadde ayombesa bba nti alinayo omukyala omulala.

Akulira ebyokwerinda ku kyalo kino, Christopher Muyimbwa avumiridde nnyo ekikolwa ky’omukala ono bw’atyo n’awa abantu amagezi okutegeezanga ku boobuyinza nga waliwo ekibasoomoza.

Emirambo poliisi egitutte mu ggwanika e Mulago ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.