Omuwala agambibwa okubba ebintu bya muganzi we mu nnyumba asindikiddwa mu kkomera

OMULAMUZI Amon Mugezi owa kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo asindise omuwala agambibwa okubba ebintu bya muganzi eby’omunju mu kkomera okutuusa nga 17, March 2022 lw’anadda omusango gwe gutandike okuwulirwa.

Omuwala agambibwa okubba ebintu bya muganzi we mu nnyumba asindikiddwa mu kkomera
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya Sduna Peter

OMULAMUZI Amon Mugezi owa kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo asindise omuwala agambibwa okubba ebintu bya muganzi eby’omunju mu kkomera okutuusa nga 17, March 2022 lw’anadda omusango gwe gutandike okuwulirwa.

Joan Najjuuko 19 abeera Kasangati mu Wakiso y’asimbiddwa mu kaguli n’avunaanibwa ogw’obubbi nga kigambibwa nti nga 22/12/2019, Najjuuko yakyalira muganzi we Peter Kasirivu e Lungujja zooni 8 mu Lubaga naye Kasirivu bwe yagenda okukola yasanga omugenyi atutte Ttivvi Hincese yiici 32, Sonny DVD ne Dikooda ya Startimes nga byonna bibaliriwamu emitwalo 90.

Kasirivu bwe yakomawo awaka yasanga ebintu tebiriimu era n’aloopa ku poliisi. Najjuuko yasoose n’akkiriza omusango guno naye wakati mu maziga yamaze n’agwegaana nti yali yeesasuza muganzi we eyali amutwalidde essimu ye eya Sumsung.

Olw’okuba teyabadde na bamweyimirira, omulamuzi Mugezi yamusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga 17, March 2022 lw’anadda mu kkooti omusango gutandike okuwulirwa.