EKIKANGABWA kigudde e Mbale, omuwala bw'afumise muganzi we ekiso n'amutta olw'ebbuba.
Attiddwa ye Jonathan Wanambwa, ng'abadde DJ ku bbaala ya Oak Bar mu kibuga Mbale era ng'abadde mutuuze w'e Muyembe mu Muluka Ward mu Industrial Division mu kibuga, Mbale.
Okuttibwa kiddiridde Geraldine Namono okumukyalira awaka nti kyokka baabadde bali mu kisenge, omuwala omulala Helly Sonia n'ayingira nga kino kinyiizizza Namono n'atandika okuyombesa DJ.
Kitegeezeddwa nti Wanambwa, naye mu busungu obungi, alagidde Namono okufuluma ennyumba ye , ekyongedde okunyiiza Namono n'amufumita ekiso mu mugongo nti kyokka baabadde baakamutuusa mu ddwaaliro e Mbale n'afa.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu ekyo, Rogers Tatitika, ategeezezza nti abatuuze abaagezezzaako okudduukirira, bakutte Namono ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.