ABANTU babiri abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kibba ebisolo by'abatuuze e Namayumba mu Wakiso, bakwatiddwa.
Ebimu ku bisolo bye baabakutte nabyo.
Bano bakwatiddwa poliisi n'amagye ku misanvu egyasuuliddwa mu kkubo e Kakiri ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima mu kiro ekikeesezza leero.
Abakwatiddwa, kuliko Frank Ssali 20 nga muvuzi wa bodaboda e Bukerekere mu Kakiri, ne Apollo Mulindwa 27 nga mutuuze w'e Buloba.
Bano babakwatidde ku pikipiki nnamba UDN 177Y kwe babadde batambuliza ennyama.
Be baakutte n'ebisolo.
Kitegeezeddwa nti bano , babasanze n'embuzi 6 ezibadde zisaliddwako emitwe n'amaliba nga bazipakidde mu biveera wamu n'obwambe era nga kigambibwa nti baazibbye kuva ku kyalo Bemba Nansiiti e Namayumba , nga babadde bazitwala kuzitundira mu Kisenyi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti obubbi bw'ebisolo omuli ente , embuzi n'enkoko, bungi mu bitundu by'e Kakiri, Namayumba n'ebitundu ebiriraanyewo.