Omuwala agambibwa okubeera nnekolera gyange, afiiridde mu kasenge ka loogi gy'abadde agenze n'omusajja okwesanyusaamu.
Bibadde mu Sanyuka loogi e Kasenge mu Kyengera town Council mu Wakiso, omuwala ategeerekeseeko erya Patricia , bw'afiiridde mu kifo ekyo, gy'agambibwa okuba nti abadde n'omusajja Godi Muwonge amanyiddwa nga Kabaka Aperu , nga bali mu kwesanyusa.
Kigambibwa nti abaagalana bano, babadde bamaze ennaku nga ssatu mu kifo ekyo mwe babadde basasula ku 10,000/= buli lunaku era nga baasembye okulabibwako nga bombi, batamidde .
Kigambibwa nti Patricia yalemeddwa n'okuyingira akasenge nti kyokka ne bamuyingiza mpola nti kyokka baabadde bagezaako okumufunira amata okumutaasa ku mwenge, n'afa .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti ,Muwonge yadduse era bamunoonya kyokka nga ggwo omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago, okugwekebejja ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.