Emmotoka emitwalo esatu zimaze okufuna Digital Number plate

EKITONGOLE  ekyakwasibwa omulimu gw'okukola digital number plate   Number plate ekimanyibwa nga Intelligent Transport Monitoring System (ITMS)  kisobodde okukola  ku mmotoka 30,000 empya nga baziteekako number plate za tekinologiya mu mwaka 2025 August

Omukozi w'ekitongole ng'assaako number plate ku mmotoka
By Godfrey Ssempijja
Journalists @New Vision

EKITONGOLE  ekyakwasibwa omulimu gw'okukola digital number plate   Number plate ekimanyibwa nga Intelligent Transport Monitoring System (ITMS)  kisobodde okukola  ku mmotoka 30,000 empya nga baziteekako number plate za tekinologiya mu mwaka 2025 August.

Enteekateeka yokuteeka number plate zino eza tekinologiya ku motooka yamugaso nnyo kubanga yakuyamba okulondoola omuntu yenna oba emmotoka singa ekola omusango kubanga zirinamu tekinologiya asobola okulondoola emmotoka 

Tekinologiya ono ayamba okulaga emotooka ekifo weeli obudde obwo ekiyamba okutegeeza polici kukitebe ekikulu ekigenze mu maaso.

Owen Muhumuza atendeka abantu kunkola ya Tekinologiya eno  mu kitongole kya  ITMS weeziri era nga  omuntu wazagalira asobola okuzifuna era mu kiseera kino emmotoka  27,000 zisobodde okutekebwako number plate zino mu mwezi gwa August , agenze mu maaso n'ategeeza nti  ekitongole kino kigenda kuba nga kye kikyasinze okufulumya number plate zino mu East Africa .

Ekitongole nga kikakkalabya omulimu

Ekitongole nga kikakkalabya omulimu

Allan Ssempebwa omwogezi we kitongole kya kye ntambula ne mirimu wabadde ku kitebe kya kampuni ya ITMS e Kawempe ategeezeeza nti kibadde kirungi nnyo ekitongole kino okwongera kumuwendo gwa number plate zino okusobozesa abantu bonna abalina emmotoka okufuna number plates zino .

Ekitongole kino ekya ITMS e Kawempe kisobole okufulumya  number plate 2500 buli lufulumya era mu kiseera kino bakafulumya number plate  95,000 okuva kampuni eno weyatandikibwaawo nabakozi 250 staff nga kubano ebitundu 90 bana Uganda .

Tekinologiya ono asabodde okuyamba okulondoola emmtoka ne bodaboda ezibidwa ne zitekebwa mu kukola ebikolobelo era emmotoka 8 wamu ne bodaboda 4 ezisobode okufunibwa  omwaka 2025