Katikkiro Mayiga awabudde ku bibiina ebigaba Card

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebibiina by’obufuzi okuwa abakulembeze Kaadi abo abalumirirwa abantu be bakulembera okusinga abo abeenoonyeza ebyaabwe

Katikkiro ng'ayogera
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebibiina by’obufuzi okuwa abakulembeze Kaadi abo abalumirirwa abantu be bakulembera okusinga abo abeenoonyeza ebyaabwe

Okwogera bino asinzidde ku mukolo kwatikulidde abantu okuva mu ggombolola okuli Busimbi-Mityana ne Bukuya- Kassanda okuva e Ssingo, Buwama- Mawokota, New England- Amerika, Abavubuka mu ssaza ekkulu erya Kampala, oluwalo lwaabwe leero e Bulange-Mmengo.

Katikkiro Mayiga ng'ali n'abaana

Katikkiro Mayiga ng'ali n'abaana

“ Ebibiina mbisaba bikwase bendera abo abalubirira okujjuna abantu so ssi abo abanoonya obunoonya okwogerwako. Twetaaga abantu abanatujjuna mu bifo by’obuyinza,” Mayiga bwagambye.

Kamalabyonna Mayiga era asabye akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga okwolesa amazima n’obwenkanya mu mirimu gyaako waleme kulabikawo baana na byaana mu bantu bekawereeza.

“Nsaba akakiiko k’ebyokulonda kakolere mu bwesimbu, mazima n’obwenkanya eddoboozi ly’abantu lisobole okuvaayo. Ebiva mu kalulu bwebiba byesigika, ensi etebenkera, olwo netubakkana n’eddimu ery’okukola kwebyo ebitukuumidde emabega,” Mayiga bwagaseeko.

Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki asabye abaami ku mitendera gyonna okwongera amaanyi mu kweteekerateekera olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda olunakwatibwa nga October 8,2025 ku mbuga y’eggombolola y’e Busukkuma- Kyadondo saako okusaba  okugenda mu maaso n’okuwagira empaka z’amasaza ezaatuuse ku luzanya lwa ttiimu munaana.

Ate ye Ssentebe wa disitulikiti y’e Mpigi ayogedde ku lwa Bannabyabufuzi abeetabye ku mukolo guno yeebazizza Obwakabaka okuteekateeka abavubuka mu by’obukulembeze n’okubakwatirako nga babutambuza era n’ategeeza Katikkiro nga bwebazizza obuggya akakiiko k’ebyettaka okutangira ekigoba bantu ku ttaka.

Katikkiro ng'akwasibwa ekifaananyi

Katikkiro ng'akwasibwa ekifaananyi

Ye Ssentebe w’ekibiina ki Lugongwe Gold Miners, Processors & Buyers Group, Ssempewo Muddo yasabye Mayiga, alabe ng’Obwakabaka bukwatagana ne gavumenti eyawakati batereeze omulimu gwaabwe ogubeezezaawo abantu nkumu ng’ekibiina kino kyokka kirimu bammemba 14000, gavumenti ereme kulowooza ku bava ebweru okusima zaabu ng’ate nabo bakisobola.

Ab’e Bukuya baleese obukadde 30, Busimbi 15,370,000/-, Buwama 17,320,000/-, New England-USA 10,500,000/-, Abavubuka mu ssaza lya Klezia ekkulu erya Kampala 200,000/- n’endala nga zonna wamu ziweze obukadde 73 ezireteddwa leero.

Omukolo gwetabiddwako Minisita w’amawulire Israel Kazibwe, ab’e Ssingo bakulembeddwa omumyuka owookusatu owa Mukwenda Steven Jjumba, ate Hajj Hassan Kasujja Kagga nga ye Mumyuka asooka owa Kayima y’akulembeddemu ab’e Mawokota. Bannabyabufuzi kubaddeko John Bosco Lubyayi, Suzan Nakawuki, Daudi Malagala- Meeya wa Busimbi Divizoni n’abalala bangi