SIPIIKA w'olukiiko lw'e Ggombolola e Kaliro, attiddwa mu bukambwe, abatemu bwe babadde bamunyagako pikipiki kw'abadde atambulira.
Goeffrey Mugoonyi 47 , ng'abadde sipiika w'olukiiko lw'e Ggombolola y'e Bumaana mu disitulikiti y'e Kaliro, y'attiddwa mu bukambwe, oluvannyuma abatemu ne bakuuliita ne pikipiki ye.
Kigambibwa nti ono ne banne , basoose mu lukiiko era n'atwalako abamu ku beyabadde nabo, nti kyokka abatemu ne bamuzingiza bwe yabadde adda awaka ne bamutta.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North , Micheal Kasadha, ategeezezza nti batutte embwa awabadde ettemu, nti kyokka tebasobodde kubaako kye bazuula era nga mu kiseera kino, omuyiggo , gugenda mu maaso.
Ayongeddeko nti, baaliba nga beeyambisizza ekiso kye bamufumise mu feesi ne ku mutwe era ng'omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika okwongera okugwekebejja