Omuwaabi wa gavumenti { State Attorney } mu ofiisi ya DPP ,asangiddwa nga yafiira mu nnyumba ennaku nga 4 eziyise.
Bino bibadde Wampeewo e Kasangati mu Wakiso, Fatumah Bbuye Nabiwemba 47, bw'asangiddwa mu kisenge ky'ennyumba ye, nga yafiira wansi w'ekitanda.
Kigambibwa nti omulambo , tegubaddeeko kiwundu wadde enkwagula, era nga tekinnamanyika , kiki , ekiyinza okuba nga kye kyavuddeko okufaakwe.
Omu ku booluganda lw'Omugenzi, ategeezezza nti, yasoose kusindika mukozi we owawaka mu kyalo, era n'amutegeeza nga bwe yabadde ajja okumala okumuyita akomewo, wabula kibabuseeko okusanga omulambo mu nnyumba.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, ategeezezza nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mulago okugwekebejje okuzuula ekituufu.