Poliisi e Bugiri eri mu kubuuliriza ku ngeri omuvubuka gye baamusse omulambo gwe ne baguleka mu ppaaka ya ttakisi ekiro.
Attiddwa ye Sharifu Nalayanya 22 ng'abadde mutuuze w'e Mugera zzooni mu ggombolola y'e Wunga e Bugiri. Balumiriza munne Boogere okubeera emabega w'ettemu lino.
Kigambibwa nti omugenzi yabadde yeebase ku lubalaza lw'edduuka lya Mutumba ekiro nti bwe baafunyemu obutakkaanya ne Boogere , n'amukuba ekiyinja ku mutwe n'aleka ng'amusse.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kafaayo, agambye nti Boogere, bamuyigga era nga yadduse.