Kabaka akomyewo n’ayongera ebbugumu mu matikkira

OKUKOMAWO kwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okuva e Bulaaya gyabadde ng’ajjanjabibwa kucamudde Obuganda.

Kabaka akomyewo n’ayongera ebbugumu mu matikkira
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OKUKOMAWO kwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okuva e Bulaaya gyabadde ng’ajjanjabibwa kucamudde Obuganda.
Kabaka yatuuse ku kisaawe e Ntebe ku Lwokutaano n’ayanirizibwa Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Polof. Twaha Kigongo Kaawaase, Omuwanika w’Enkuluze
John Kitenda n’abakungu abalala. Ng’ayogerako eri Bannamawulire, Polof. Kaawaase yategeezezza ng’okukomawo kwa Kabaka mu nsi ye bwe gali amawulire ag’essanyu eri
Obuganda.
“Abasawo bamalirizza okumujjanjaba ky’avudde akomawo kuno. Kyokka akyali ku biragiro by’abasawo era kye batulagira tetusuubira kukivaako. Naye ekirungi kati
mwaali mu nsi ye alamula,” Polof. Kaawaase bwe yayogedde.

Kabaka Mutebi II yagenda e Bugirimaani okwekebejjebwa abasawo be abakugu nga June 5, 2025 nga
kw’olwo yasiibulwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ku kisaawe e Ntebe.
Ekiseera kino Obuganda era buli mu kwetegekera okujaguza amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 32 aganaabeerawo nga July 31, 2025.

Emikolo gy’ebijaguzo gyakubeera ku Muzikiti e Kibuli mu Kampala okutandika ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo.
Hajji Ahmed Lwasa Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda ye Ssentebe w’enteekateeka zino ng’amyukibwa Minisita w’amawulire, Okukunga abantu era
Omwogezi w’Obwakabaka, Israel Kazibwe Kitooke.

Abantu ba Kabaka naddala abali
ku mitimbagano baateekako obubaka obumukulisaayo n’okumwagaliza obulamu obulungi.