ABAYIZI abasoma ebibuuzo bya PASS PLE ebifulumira mu lupapula lwa Bukedde buli lwa Mmande n’Olwokuna, balaze engeri ebibuuzo bino gye bibay-ambye, ne batangaaza emikisa gyabwe egy’okuyitira waggulu ebigezo by’akamalirizo ebya PLE.
Mu masomero ag’enjawulo, abayizi baakola ebibiina bya PASS PLE (Pass PLE Clubs), mwe bayita okukubaganya ebirowoozo ku bibuuzo Bukedde byefulumya ne kibayamba okugaziya obwongo n’okumanya engeri ebibuuzo bya PLE gye bibuuzibwamu, n’obukodyo bw’okubiddamu.Abayizi ba P7 okuva ku ssomero lya Madarasat Hamuza mu kibuga ky’e Mbarara baagambye nti Pass PLE wa Bukedde abay-ambye nnyo naddala mu ssomo ly’okubala (Mathematics) era bukyanga babitandika obwongo bwabwe bukyuse kinene nnyo.
Bino abayizi n’abasomesa b’essomero lino baabigambye akulira okusaasaanya empapula za Vision Group mu bugwanjuba bw’eggwanga, Geoffrey Byamu- 8 Bukedde Mmande July 7, 2025Abayizi ku ssomero lya Madarasat Hamuza PS e Mbarara nga nga bayita mu bibuuzo bya Pass PLE wa Bukedde.gisha, eyabakyaliddeko okulaba engeri gye bakozesaamu ebibuu-zo bino, n’okumanya engeri gye bibayambye okwetegekera PLE, n’okuyitira waggulu.
Omu ku basomesa mu ssomero lino, Sarah Naluyima yagam-bye nti baganyuddwa nnyo mu bibuuzo bino, kubanga bifuluma buli wiiki, ekiyamba abayizi okumanyiira ebibuuzo n’enziramu yaabyo, era bonna tebakyalina katengo nga balabye ku kigezo, era kyakubayamba okuyita ebig-ezo bya PLE.
Ye ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’essomero, Razak Ssekandi yagambye nti ebibuuzo bino bi-yambye abayizi okwekkiririzaamu kubanga abasomesa ababikola bava mu masomero ag’amaanyi agayisa obulungi abayizi.
Ye Byamugisha yasabye amasomero, abazadde n’abayizi okwettanira amawulire ga Bukedde buli Mmande n’Olwokuna, okuyamba abayizi okuyitira waggulu ebigezo bya PLE, kibayambe okuvuganya n’abayizi abalala mu ggwanga mu biseera byabwe eby’omu maaso.Ku ssomero lya Buhinga Primary School mu disitulikiti y’e Fort Portal, omusomesa w’essomo ly’okubala, Christine Katusiime yagambye nti ebibuuzo bino bi-yambye abayizi baabwe okusoma ebintu ebipya bye batannaba kutuukako, ate n’okwejjukanya ebikadde bye baamala edda, ekibayambye obuteerabira, nga ne bwe banaatuuka ku PLE baba-suubira okuyitira waggulu.Omukwanaganya w’ebibuuzo bya Pass PLE mu Bukedde Miriam Nambatya, yagambye nti ebibuuzo bya Bukedde bikolebwa abasomesa okuva mu masomero ag’amaanyi agayisa obulungi abayizi, ekiwa omukisa n’omuyizi ali ewala okugabana ku magezi bayizi banne mu masome-ro ag’amaanyi ge bafuna.Yasabye amasomero okwet-tanira ebibuuzo bino, bibayambe okuteekateeka abaana baabwe