OMUVUBI agambibwa okugezaako okudduka abalwanyisa envumbi embi, agudde mu mazzi n'afiiramu

OMUVUBI agambibwa okugezaako okudduka abalwanyisa envumbi embi, agudde mu mazzi n'afiiramu.

OMUVUBI agambibwa okugezaako okudduka abalwanyisa envumbi embi, agudde mu mazzi n'afiiramu
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

OMUVUBI agambibwa okugezaako okudduka abalwanyisa envumbi embi, agudde mu mazzi n'afiiramu.

Bino bibadde ku mwalo gw'e Ggaba ku nnyanja Nalubaale mu Kampala, omuvubi ategeerekeseeko erya Abdul bw'agezezzaako okuwuga atuuke ku lukalu ng'adduka abagambibwa okuba aba UPDF , bw'alemereddwa n'afiira mu mazzi.

Kigambibwa nti Abdul yabadde ne munne Ronald Sentamu, nti bwe babadde bava okuvuba ne bekanga eryato eryabadde libawondera nti kwe kusooka okusuula ebyennyanja n'obutimba mu mazzi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti, oluvannyuma bombi babuuse okuva mu lyato ne bagwa mu mazzi nti kyokka ye Sentamu n'asobola okuwuga okutuuka kulukalu , naye abdul n'alemererwa n'afiira mu mazzi.

Oweyesigyire, agasseeko nti , basobodde okuggyayo omulambo ne bagutwala mu ggwanika e Mulago okwongera okugwekebejja ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.