Munnakatemba omugenzi Paul Kato Lubwama era eyaliko omubaka wa paalamenti owa Lubaga South, olumbe lwe lwabiziddwa wakati mu bannabyabufuzi bangi obutalabikako kyokka bo bannakatemba ne balujjumbira.
Nnamwandu Anna Lubwama
Bannakatemba n’abayimbi omukolo bagujjumbidde era kubaddeko; Abbey Mukiibi, Aloysius Matovu Joy, John Ssegawa, Mesach Ssemakula, Ronald Mayinja, Dr Bbosa owa Ebonies, Ssenga Nantume, Rebecca Jjingo, Charles Siasa Ssenkubuge, Abdulzaake Ssemakula owa Diamond Ensemble n’abalala bangi.
Kuliko ne mikwano gye okuli Robert Kasibante owa Victory School of Beauty e Nateete era akulira skilling Uganda, Miles Rwamiti, Kojja Kimbowa ow’eddagala ly’ekinnansi n’abalala bangi.
Abamu ku bantu abaabadde ku lumbe.
Omusuubuzi wa yingini z’amaato eza Yamaha Godfrey Muhiirwa owa Yamaha Center mu Ndeeba, yawaddeyo ente nga baakafulumya olumbe, eyambeko okugabula abantu ku mukolo ng’agamba nti Kato yabakolera bingi bye batayinza kwerabira.
Ekiro kyasuze kitokota, abayimbi ne bannakatemba ssaako abagoma baasuze bakooka n’okukuba embuutu ppaka budde kukya ng’omugenzi bwe yalaama.
Banaddiini era nga bwe gwali mu kuziika, ne ku lumbe tebaalabiseeko, olwamaze okusumikira omusika kumakya g’Olwomukaaga ne batandika kwogera okumulaga eri abantu, okuggyako omusumba Aloysius Bujingo eyayiseewo n’amusabira okutuula obulungi mu ngatto za kitaawe aleke omukululo.
Nsereko ng'ayogera.
Omusika Conrad Ssaabwe Lubwama, mutabani w'omugenzi omukulu ye yasikidde kitaawe era yaakwasiddwa ensawo y’olubugo, katikkiro w’essiga lya Magunda Walusimbi Mpanga n’amukuutira okubeera omusajja omukozi, akole ng’atereka zisobole okuwera alabirire bulungi baganda be.
Yamukuutidde obuteerabira ggwanga lye Buganda n’obuwangwa bwe. Ssaabwe yeeyamye okukuuma baganda be obumu ate n’okutwala ekitone kya kitaawe mu maaso ng’atandikira ku ebyo bye yaleka atandiseeko.
Israel Kazibwe Kitooke, omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda nga ye yakiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga atasobodde kubeerawo, atenderezza Kato nti yali munnabitone omusanyusa, eyakozesa ekitone kye okuyitimuka.
Comments
No Comment