Omusawo w'ekinnansi agambibwa okubbira abantu ku Tiktok akwatiddwa

Poliisi ekutte omusawo w’ekinnansi n’abayambi be babiri nga kigambibwa nti balina omuvubi gwe baabbyeko obukadde 3,500,000/= nga bamukakasizza okumwambululako ekisiraani ekyezinze mu mirimu gye.

Omusawo w'ekinnansi agambibwa okubbira abantu ku Tiktok akwatiddwa
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision
#Omusawo #Tiktok #Kinnansi #Akwatiddwa

Poliisi ekutte omusawo w’ekinnansi n’abayambi be babiri nga kigambibwa nti balina omuvubi gwe baabbyeko obukadde 3,500,000/= nga bamukakasizza okumwambululako ekisiraani ekyezinze mu mirimu gye.Abakwate buli omu obwedda alumiriza munne nti omuvubi gwe yakwasizza ssente.

Godfrey Basalirwa omusawo w’ekinnansi eyagambye nti alina essabo ku luguudo lwa Northern by pass ye yakwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe  n’abayambi be okuli Muzilimu Mutwalibu, Rahimu Kintu.

Mutwalibu Nga Bamukutte.

Mutwalibu Nga Bamukutte.

Kigambibwa nti baafeze omuvubi eyatidde okukwatuukiriza amannya obukadde 3 n’ekitundu ze yayingidde nazo mu ssabo ne bazimuggyisa mu nsawo oluvannyuma ne bazimubbako ne batandika okumubuzaabuza.

Omuvubi ow’emyaka 35 avubira ku mwalo e Kiyindi mu disitulikiti y’e Buikwe (amannya galekeddwa) yagambye nti  abasawo bano yabafunira ku Tiktok  mu April w’omwaka guno ne bawaanyisiganya ennamba z’amasimu n’abategeeza nga bw’alina obuzibu mu mirimu gye ne bamukakasa nga bo bwe basobola okumwambululako ekisiraani emirimu ne gitereera.

Yagasseeko nti yagenda okulaba nga bayitiridde okumukubira amasimu n’abeesonyiwa. Mu mwezi guno baamutegeeza nga bw’agenda okufuna ebizibu bwe bw’aba yagaana okumukolako.

Yagambye nti kino kyamuwalirizza okubasindikira 35,000/ ez’okumukubeera ne 120,000/  ez’okugula ebintu eby’okukozesebwa okumwambulula okutuusa bwe yeesitudde n’ajja ne bamulagirira we bakolera.

 

Yayongeddeko nti olwayingidde munda baamulagidde buli ky’alina mu nsawo akiggyemu batandike okumukolako.

Yagambye nti yabadde n’obukadde 3,500,000/ n’aziggyamu n’aziteeka mu kibbo ng’amanyi bagenda kuzimuddiza.

Agamba nti baamulagidde okufuluma wabweru ateeke akabaani ku muliro yagenze okuwulira nga bamugamba nti ssente z’atadde mu kibbo zifuusemu essimu ne bamutegeeza nga bw’aziwonye kuba zibaddeko ebisiraani bingi.

Wano we yazibukidde amaaso n’atemya ku baserikale ne bakwatibwa. Abakwate  nga bali ku poliisi  buli omu obwedda alumiriza munne nti ye yaggye ssente mu kibbo. Bano bagguddwako omusango ku ffayiro nnamba SD REF: SD REF 26/29/10/2024