ASHA Nakawuma,59, mutuuze w’e Matugga, aludde ng’alimizibwa amagulu. Agamba yabuuka eddaala mu butanwa n’agwa wabula teyawulirirawo buzibu mu kiseera ekyo. Wabula oluvannyuma obulumi bwatandika nga bwasooka na mugongo, era yalongoosebwa n’assibwaamu ebyuma ne gutereera.
Naye waayitawo ekiseera n’atandika okulumizibwa amagulu era omusawo n’amutegeeza nga geetaaga kulongoosa, era ne bamukolako.
Polof. Isaac Kajja, nga musawo w’ennyingo mu ddwaaliro e Mulago, agamba nti, obuzibu bw’okulwala amaviivi bugenze bweyongere kubanga n’abantu bongedde
okuwangaala ng’amaviivi gatuuka emyaka ne gasebbuuka olw’okukaddiwa kw’ennyingo z’omuntu.
Agamba nti, buli mwaka balongoosa abantu abasukka 15 kubanga obujjanjabi bwa buseere ng’abantu balina okwegulira ennyingo. Wabula, waliwo bannamikago
okuva mu mawanga ag’ebweru, abayambako ku bantu abatalina busobozi okulongoosebwa ku bwereere era ng’abantu abawera 35 be baganyuddwa mu nteekateeka eno mu mwezi gw’okutaano mu lusiisira lw’endwadde z’amaviivi
olwali e Mulago.
Ayongerako nti, balongoosa bbunwe, obukongovule, amaviivi, ebiseke, ebibegabega, enkokola, emigongo n’akabina.
EBIRWAZA AMAVIIVI
Polof. Kajja agamba nti:
Obukadde kimu ku bisinga okutawaanya abantu ne bafuna embeera ey’obubebenu okwewagala ne buggwaako olwo amagumba ne gatandika okukoonagana
ekivaako obulumi mu nnyingo oba awali ebinywa.
Okumenyeka okw’engeri yonna n’otojjanjabwa bulungi kusobola okukosa obubebenu b ’ennyingo.
Okukosebwa kw’ebinywa naddala mu basambi b’omupiira n’abazannyi ba Rugby era bano ennyingo zaabwe zitera okufa amangu nga zeetaaga kulongoosebwam wadde tebannakaddiwa.
Omugejjo guvaako obuzibu ku binywa ebimu. Emmere y’obumpwankimpwanki oba
ensiikesiike evaako omugejjo oguvaako akabebenu okusebbuuka, atenga tebaamu biriisa
ebiyamba okugumya akabebenu.
BW’OKUUMA AMAVIIVI NGA MALAMU
Polof. Kajja ategeeza nti:
1 Kikulu omuntu okwettanira okulya emmere erimu ebiriisa ebyetaagibwa omubiri byonna okuyamba okukuuma akabebenu k’ennyingo oba evviivi, kano kakuumibwa ekirungo ekizimba omubiri nga keetaaga okuliikiriza obulungi. 2 Okwewala okumala ekiseera ekiwanvung’otudde ate nga tokola dduyiro ayamba ebinywa okwegolola.
3 Kikulu okwettanira dduyiro okugumya ebinywa bisobole okuwanirira obuzito obutekkata ku nnyingo era kitangire n’akabebenu okusebbuuka.
4 Kikulu okwettanira abasawo abakugu bakwekebejje n’okuzuula ekituufu okusinziira ku bukugu bwe balina mu ndwadde ez’enjawulo. Weetaaga okutegeera buli ndwadde n’okwewala okuwuliriza ebiwanuuzibwa ku ndwadde ez’enjawulo kubanga ebisinga biwabya