Ab’e Mityana balaze ebibanyiga mu byobulamu

ABAKULEMBEZE b'e Mityana ku mitendera egy'enjawulo balaze ebintu ebibanyiga mu byobulamu ekivuddeko abantu baabwe okubonaabona n’obutafuna bujjanjabi bweyagaza.

Omusawo ng’awa Omusumba Lule obujjanjabi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKULEMBEZE b'e Mityana ku mitendera egy'enjawulo balaze ebintu ebibanyiga mu byobulamu ekivuddeko abantu baabwe okubonaabona n’obutafuna bujjanjabi bweyagaza.
Mu bye bamenye mulimu; eddagala ettono okuva mu Gavumenti, omusujja gw’ensiri kuba bali kumpi n’ennyanja Wamala, abawala abatanneetuuka okufuna embuto, entambula y’abalwadde embi okutuuka ku malwaliro egeesudde, omuwendo gw’abasawo omutono n’ebirala. Amyuka akulira ebyobulamu mu Mityana, Joseph Muwanga agamba nti eddagala lye bafuna mu disitulikiti ttono ddala okusinziira ku bungi bw’abantu mu kitundu.
Muwanga agamba nti pulaani ya Gavumenti gye batambulirako mu by’eddagala lye bafuna yabagibwa emyaka 13 emabega ng’abantu bakyali batono kyokka kati beeyongedde.
“Entekateeka gye tutambulirako mu byobujjanjabi, Gavumenti yagikola emyaka 13 emabega ng’abantu obukadde 34 be balina okugiganyulwamu. Wabula abantu beeyongedde okutuuka ku bukadde 40 kyokka eddagala n’ebirala bye tufuna tebyakyuka,” Muwanga bwe yagambye.
Muwanga agamba abalwadde beesomba okuva mu bitundu ebibaliraanye omuli; Gomba, Mpigi, Kassanda n’abayita ku nnyanja Wamala ne beeyiwa mu mwalwaliro gaabwe okufuna obujjanjabi naye nga teri ddagala.
Wabula kati musanyufu olw’obuweereza bwe baafunye minisitule y’ebyobulamu bwe yakwataganye n’ekitongole kya Amref wansi w'omulamwa ogwa Saving Lives and Livehoods, ababayambyeko okutambuza eddagala n’okutegeka ensiisira z’ebyobulamu mu bitundu abatuuze ne bagema abaana n'obujjanjabi obulala.
Yayongeddeko nti ekitongole kya Amref kibayambye okusasulira abasawo mu byentambula ne bava ku ddwaaliro gye bakolera ne batuuka ku balwadde mu bitundu byabwe gye babadde basanga obuzibu okuva.
Ate Betty Anzaru, akola ku by’abaana mu Mityana agamba nti obulwadde obusinga okubatawaanya gwe musujja gw’ensiri kuba balina ebisaalu ku nnyanja Wamala, ensiri mwe zibiikira.
Ayongerako nti wadde bafubye okugaba obutimba bw’ensiri mu bitundu eby’enjawulo, omusujja gukyali mungi. Ng’oggyeeko omusujja n’endwadde okuli embiro, yinfekisoni n’endala nazo zibasumbuwa.
Fatumah Namusoke, nga musawo ku ddwaaliro lya Malangala Health Centre III yategeezezza nti balina ekizibu ky’abawala abatanneetuuka abafuna embuto olw’embeera y’obwavu gye bakuliddemu.Agamba nti bano bazaala baana bannaabwe kyokka nga babadde n’ekizibu ky’okubatuukako mu byalo. Abaana abamu babadde basangibwa bakuliridde kyokka nga tagemebwangako bukya azaalibwa. Rebecca Nabatanzi omusawo ku ddwaaliro lya Malangala Health Centre III agamba nti babadde n’obuzibu bw’okugema abaana ng’abazadde batono abajjumbira.
Ayongerako nti ekitundu kyabwe kibadde kisigalidde emabega mu by’okugema abaana kyokka bayambiddwaako minisitule y’ebyobulamu ne Amref esasulira ebyentambula nga basobodde okutuuka mu byalon’amasomero naddala aga Gavumenti gye bagema abayizi abawala kookolo w'omumwa gwa nnabaana. Mu nkola eno, abakyala n’abaami bagemebwa tetanasi n'obulwadde bw’ekibumba (Hepatitis B), ekibayambye okutuuka ku tajeti yaabwe mu by'okugema.
Omusumba Jackson Lule nga ye ssentebe w’ekyalo Nkonya mu Mityana agamba y’omu ku baganyuddwa mu nkola ya minisitule bwe yeegatta ne Amref kuba baaleeta ensiisiira mwe bajjanjabira abantu abasukka 70 ku kyalo