Nneekolera gyange alaalise omusuubuzi eyamutwalidde ab'obuyinza okumujjako omwana omwana gweyamuzaalamu nti asooke ku DNA.
Omukazi alaalise omusajja nti wadde akaayanidde omwana naye okukebera endaga butonde kwekulina okusalawo eggoye.
Anthony Sserugo, omusuubuzi w'engoye mu ka katale bus park mu tawuni y'e Kayunga agambye nti enkolagana ye ne Mariam Kobusingye yatandikira mu bya kugulana era nga omusajja yasanganga omukazi ono mu bbala gyeyali yetundira n'atandika nga kasitoma wabula ne baagalanira ddala okukkakkana nga bazadde omwana.
Sserugo agambye nti baatuuka ekiseera ne balemaganwa ne Kobusingye buli n'abeera ku lulwe wabula ku ntandikwa y'omwaka guno yamusaba amuddize omwana atandike okusoma omukazi ne yerema.
Sserugo ensonga yazitwala ku poliisi y'ebyamaka era bano ensonga ne bazikwasa Collins Kafeero ow'eddembe ly'obuntu, amaka n'abaana eyagenze Kobusingye gy'asula okumujjako omwana.
Kafeero olufunye omwana n'amutwala ne bazadde be bombi poliisi era eno omwana ne bamukwasa kitaawe Sserugo ne balagira nnyina nti bw'anaayagalanga okulaba omwana ateekeddwa kuyita ku poliisi mu ofiisi y'amaka.
Kobusingye atunyumirizza engeri omusajja ono gyeyamuwa olubuto n'atamuwa buyambi era n'agenda mu maaso n'omulimu ogw'okwetunda mw'ajja ekigulira magala eddiba wabula yali asulirira okuzaala kwekunoonya omusajja ono ne bamuteeka mu muzigo gweyasasulako emyezi mibale olwo omukazi n'atandika okugwesasulira ppaka kati.
Omukazi agambye nti omwana bweyayandika okutuula yalaba amusikambula nnyo amabeere n'agamujjako olwo n'amusuulira kitaawe eyamutwalira mukazi we omukulu wabula ne bamumuddiza nga akozimbye.
Kobusingye agambye nti okuva Sserugo lweyamanya nti yamuzzaako omusajja omulala gw'atwala nga bba nga ojjeeko abo b'akolamu ensimbi kyekyamutabula.
Kafeero agambye nti omwana ono muwala era nga embeera mw'abadde abeera ne nnyina emuteeka mu katyabaga kubanga nnyina akyusakyusa abasajja n'oluusi abasajja ne balwanira nnyina omwana alaba n'ebikonde ebimu bisibira ku mwana.
Balirwana bagambye nti Kobusingye bw'afuna omusajja ayagala "away" takomawo olwo n'aleka omwana n'asula yekka mu nnyumba