Bya Moses Lemisa
OMWANA alumirizza bba wa ssenga we okumukozesa enfunda eziwerako
n’amutiisatiisa okumutta singa ayogera. Ensonga bazitutte ku poliisi, baliraanwa ne bamuwaako obujulizi.
Ronnie Kazibwe omukinjaagi mu lufula y’oku Kaleerwe y’aliira ku nsiko oluvannyuma lw’omwana wa mukyala we, Sumayiya Nalukenge okumulumiriza mu maaso g’abaffamire nga bw’aludde ng’amusobyako, Kazibwe ebigambo byamukalidde ku matama n’asalawo okudduka.
Omwana amannya gasirikiddwa asoma P4 ng’abeera ne ssenga we mu Ddobi Zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe.
Yagambye nti Kazibwe buli lw’abadde alaba nga ssenga taliiwo ekiro ng’amukozesa era ng’omulundi ogwasooka yamugamba nti singa ayogera agenda kumutta .
Yagasseeko nti ku olwasembyeyo yamukozesezza ekyamuviiriddeko okulumizibwa mu
bitundu by’ekyama kwe yasinzidde okubuulirako omu ku ba ssenga abalala abaayise Kazibwe ne bamukunya yalabye bimutabuseeko n'adduka.
Sumayiya Nalukenge akola ogw’okusiika Chipusi yategeezezza nti bamaze ne bba emyaka musanvu era balina omwana omu, nga Kazibwe mukinjaagi mu lufula y’oku
Kaleerwe ebyomwana okukwatibwa yabiwulidde ku muganda we, omwana gwe yatuukiridde n'amubuulira.
Yagasseeko nti tayinza kuwakanira bba kiyinza okuba ekituufu ng’omwana azze amukozesa nga ne baliraanwa bagamba bazze bamuwulira.
Yayongeddeko nti bba yadduse ku kyalo era n'alayira nti tagenda kumuddira n’amusaba afune omukazi omulala gye yaddukidde .
Ebbaluwa z’omusawo wa poliisi zaakakasizza okukwatibwa kw’omwana ono. Omusango guli ku fayiro nnamba SD REF: 08/04/06/2021
Paul Mukwaya ssentebe wa Dobi zooni yagambye nti Kazibwe muntumulamu wabula buli lw’abadde akozesa ebiralalagala n’omwenge nga bimuviiraako okuva mu buntu.
Yagambye nti embeera eno ebawalirizza okuwandiikira omubaka wa pulezidenti e Kawempe ne poliisi okulaba nga basitukiramu ku biragalalagala ebiyitiridde mu bitundu ebiviiriddeko abasajja okweyisa ng’ensolo.
Abdu Kabwama taata w’omwana nga mukozi yategeezezza nti maama w’omwana baayawukana n’asalawo okumuwa mwannyina Nalukenge nga kyamwewuunyisizza ate mukoddomi we okusiiwuuka empisa.