Amawulire

Omusajja abadde anoonya obuyambi bw'omwana bamukutte nga bamuteeberezza okuba nti amubbyed

OMUSAJJA abadde anoonya obuyambi ng'ali n'omwana we ow'emyezi Omukaaga ,yakwatiddwa poliisi nga bamutebeereza okubba omwana.Omusajja ono Abdu Kato nga yabadde akola nga kondakita mu Bus za YY Coaches , ye yasangiddwa n'omwana omulenzi ng'atambula naye oluvannyuma lwa nnyina okufa n'amumulekera nga muwere.

Omusajja abadde anoonya obuyambi bw'omwana bamukutte nga bamuteeberezza okuba nti amubbyed
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Godfrey Kigobero 

OMUSAJJA abadde anoonya obuyambi ng'ali n'omwana we ow'emyezi Omukaaga ,yakwatiddwa poliisi nga bamutebeereza okubba omwana.

Omusajja ono Abdu Kato nga yabadde akola nga kondakita mu Bus za YY Coaches , ye yasangiddwa n'omwana omulenzi ng'atambula naye oluvannyuma lwa nnyina okufa n'amumulekera nga muwere.

Yatambudde okuva e Busega mu munisipaali y'e Rubaga nti kyokka yabadde atuuka ku Jinja road ng'ayolokera ofiisi za Bukedde gye yabadde ayagala okwekubira omulanga, poliisi n'emukwata ne bamutwala ku Jinja road mu Kampala, okwongera okumubuulirizaako.

Kato eyabadde mu nnaku ng'akankana olw'enjala n'obukoowu, yakakasizza ng'omwana bw'ali owuwe nga yamusigaza oluvannyuma lwa mukazi we okufa nga y'akamuzaala emyezi Mukaaga egiyise, ng'abadde talina gw'amulekera waka, kwe kusalawo okutambula naye , abalala abato abasatu n'abalekayo eka , ng'anoonya akawunga.

Oluvannyuma baamukiiriza ne yeyongerayo wakati mu kutolotooma.

Poliisi y'emu eya Jinja road , etubidde n'abaana Bana abali wansi w'emyaka 18, ababadde batwalibwa mu bitundu eby'enjawulo okukola obwayaaya, nti kyokka bakama baabwe ne babefuulira ne babagoba , kwe kubakunganyiza ku poliisi ng'abasirikale bwe banoonya ebikwata ku bantu baabwe.

Akulira ensonga z'amaka n'abaana ku poliisi eno Merry Amunyo , alabudde abantu okukomya okukozesa abaana abato nti kuba guba musango

Tags: