OMUNTU omu afiiridde mu kabenje akagudde e Seeta ku makya galeero ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mukono.

By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

OMUNTU omu afiiridde mu kabenje akagudde e Seeta ku makya galeero ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mukono.

Wabaddewo akalippagano k'ebidduka akamaanyi, ng'ekkubo lisaliddwako olw'akabenje era okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa poliisi , abo ababadde bava e Kampala okudda e Kireka babadde balina kuyitira Kinnawattaka , Kirinnya ne ku Jokers.

Ate abo ababadde bakozesa Northern by pass nga basabibwa kuyitira ku nkulungo y'e Naalya , Kyaliwajjala , Sonde okutuuka e Seeta. Ate ababadde bava e Mukono okudda e Kampala babadde balina kuyitira Kalagi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, akakasizza omuntu omu nti yafiiridde mu kabenje akabaddemu ekimotoka ekitabula enkokoto n'emmotoka endala era nga mu kiseera ekyo, zibadde tezinnagibwa mu luguudo ekireseewo akalippagano.