Baaagala enkola ya National Single Registry (NSR) eyongere okubunyisibwa mu Uganda

Chryspin Afifu, omukugu okuva mu okuva mu ICRW yagambye nti bwetuba ne NSR etumbuddwa bulungi, buli kitongole ekigaba obuyambi oba gavumenti eyagala okuwa obuyambi ejja kuyita mu NSR okusobola okwewala okugabira bantu abamu emirundi mingi ate abalala ne baviiramu awo.

Baaagala enkola ya National Single Registry (NSR) eyongere okubunyisibwa mu Uganda
By Frank Lukwago
Journalists @New Vision
#National Single Registry #NSR #ICRW

Uganda bwe yatongoza ekitongole kya National Single Registry (NSR) for Social Protection nga February 4, 2021, ekigendererwa kyali kyeyoleka bulungi: okuwa omukutu ogw’awamu ogw’okugatta amawulire amakulu ku bantu abaganyulwa mu nteekateeka z’okukuuma abantu.

Emabegako, amawulire gaali gaddibwamu era eby’obugagga byabulananyizibwa kubanga enkola ez’enjawulo ez’amawulire agakwata ku nzirukanya y’emirimu ezaakolebwa okuwagira enzirukanya n’okuddukanya enteekateeka z’okukuuma embeera z’abantu zaali tezikola bulungi.

Nga kirabibwa ng’eddagala eriwonya okusoomoozebwa kuno, NSR ebadde yankizo nnyo okukung'aanya amawulire ne kalonda yenna akwata ku mbeera z’abantu mu Uganda eri abantu ssekinnoomu.

Emyaka ena kati, abantu bangi bayayaanira enkola eno okulaba ng'ebunyisibwa mu misoso egyenjawulo.

Kirabo Suubi, omunoonyereza w'ebya Ssaayansi ku International Centre for Research on Women (ICRW) agamba nti waliwo ebiseera omuntu omu gy’afunira obuyambi okuva mu pulogulaamu ez’enjawulo ate abalala ne batabaako na kimu kye bafunye.

Suubi (mu kifaananyi wansi) bino yabyogedde bwe yabadde ayanjula ebikulu ebizuuliddwa okuva mu kunoonyereza kwa ICRW ku nkola z’okukuuma embeera z’abantu ezikola obulungi eri abakyala mu Afrika. Okusingira ddala, ekitongole kino kyakola okunoonyereza okusookerwako mu Uganda ne ku muliraano Kenya okunoonyereza ku by’abakyala bye bayitamu n’ebyo bye baagala nga bikwatagana n’enteekateeka zino ez’okukuuma embeera z’abantu.

Ebirabiddwamu mu kunonyereza

Omukolo guno gwayindidde ku Sheraton Hotel mu Kampala ku Lwokusatu (August 27) era abaakoze okunoonyereza baazudde nti abakyala basanga okusoomoozebwa okwenjawulo ku pulogulaamu ezikwata ku mbeera z'abantu omuli enguzi ekudde ejjembe, obutamanya bikwata ku pulogulaamu zino, n'ebizibu ebirala kamaala!.

Mu Uganda, okukuuma embeera z’abantu kumanyiddwa ng’eddembe ery’omusingi era empagi enkulu mu kutumbula enkulaakulana y’eggwanga n’obwenkanya mu bantu. Okusukka ssemateeka wa 1995, enkola endala enkulu zigunjiddwaawo mu nsonga eno: Enkola y’eggwanga ey’okukuuma embeera z’abantu eya 2015 n’enteekateeka y’okukuuma embeera z’abantu eya 2024.

Obukuumi bw'embeera z'abantu buzingiramu enkola ne pulogulaamu ezitegekeddwa okukuuma abantu ssekinnoomu n'amaka okuva mu kabi, obuzibu, n'ebizibu ebiyinza okubaawo mu bulamu bwabwe bwonna. Kyokka mu butuufu, si buli muntu nti afuna emikutu gino.

Abakyala naddala abali mu byalo itali bitongole n'ebyalo, n‟abo abali mu mirimu egya lejjalejja ebiseera ebisinga balekebwa mabega mu puloulaamu zino.

Ebiruubirirwa ku kutumbula NSR

Chryspin Afifu (mu kifaananyi wansi), omukugu okuva mu okuva mu ICRW yagambye nti bwetuba ne NSR etumbuddwa bulungi, buli kitongole ekigaba obuyambi oba gavumenti eyagala okuwa obuyambi ejja kuyita mu NSR okusobola okwewala okugabira bantu abamu emirundi mingi ate abalala ne baviiramu awo.

Okuddamu kwa Gavumenti

Ku mukolo guno, Hajji Idi Mubarak Mayanja okuva mu Minisitule y’Ebyobulamu y'ekikula ky'abantu, yagambye nti:

“Waliwo pulogulaamu nnyingi ezizze ziyambako kyokka wadde guli gutyo, tukyalina olugendo luwanvu n'agamba nti wadde ng'okusomoozebwa kunene naye kati amaanyi bagatadde mu NSR.

Hajji Idi Mubarak Mayanja

Hajji Idi Mubarak Mayanja

Yawadde essuubi nti gavumenti yasuubizza okuvujjirira enkola eno mu mwaka gw'enyensimbi guno gwe tulimu okwongera okugibunyisa mu misoso egyenjawulo.