OMUMYUKA W'omukulembeze w'eggwanga Jesca Alupo yeebaziza gavument ya Buyindi olw'ettofaali ly'etadde ku nkulaakulana y'eggwanga naddala mu by’obulamu,eby'obulambuzi ,obusuubuzi n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.
Okwogera bino abadde ku ssomero lya Kampala Parents nga bannansi ba Buyindi bajaguza emyaka 75 egy'obwetwaze.
Omukolo gino gy'etabiddwako abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo omubadde Amyuka ssabaminista wa Uganda asookerwako Gen Moses Ali,Minister omubeezi ow'amakolero n'ebibiina by'obwegassi Harriet Ntabaazi n'omugagga Sudhir Rupaleria,Diana Mutasingwa Minister omubeezi mu office y'omumyuka w’omukulembeze w'eggwanga.

Abayindi nga bayisa ebivvulu
Bannansi ba Buyindi boolesezza obuwangwa bwabwe nga bayita mu nyimba ,ebitontome ekisanyusizza abeetabye ku mukolo guno .
Abakulira ebibiina ebigatta Abayindi beebaza abasawo mu Uganda akensusso olw'okukola obutaweera okulaba nga bafuna obujjanjabi obusinga obulungi naddala mu biseera by'omuggalo ogwaleetebwa covid 19.
Omubaka wa Buyindi mu Uganda Ajay Kumar yategeezezza nti India weyafunira obwetwaze mu mwaka gwa 1947 yali mabega nyo ebitagambika naye olw'okwelwanako kati y’emu ku mpagi ensi kweyesigamye naddala mu by’obulamu ,Sayansi ne tekinologiya era n'asuubiza nti enkolagana ya yaabwe ne Uganda ekyali nywevu ddala.

Ndi 8
Minisita omubeezi ow'ebyobusuubuzi Harriet Ntabaazi yeebazizza abayindi olw'okuwa bannayuganda emirimu mu makolero gaabwe ekiyambye eggwanga ku kizibu ky'ebbula ly'emirimu naddala mu bavubuka.
Amyuka omukulembeze w'eggwanga Jesca Alupo mu bubaka bwe bwatisse minister omubeezi mu office ya Vice President Diana Mutasingwa akulisiza buyindi okutuuka ku kkula lino ery'emyaka 75 egy'obwetwaze.
Asiimye Gavument ya Buyindi olw'ettofaali lyetadde ku nkulakulana ye ggwanga ku mitendera egy'enjawulo omuli okulambula byobulamu naddala gavumenti ya Buyindi bweyawa Uganda eddagala erigema covid 19