Omumyuka wa Supreme Mufti Sheikh yennyamidde olw'ennyambala embi

OMUMYUKA wa Supreme Mufti Sheikh Ibrahim Ntanda Muzanganda yennyamidde olw’ennyambala embi eyitiridde mu basiraamu nga kumpi kati bayita bukunya.Muzanganda okwogera bino abadde asisinkanye abasiraamu be Mbuya n’ategeeza nga  abantu bwebavudde ku mulamwa gw’obwa Katonda ky’agamba nti kimenya mateeka era kiva ku mulamwa gw’obwa Katonda.

Omumyuka wa Supreme Mufti Sheikh yennyamidde olw'ennyambala embi
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

OMUMYUKA wa Supreme Mufti Sheikh Ibrahim Ntanda Muzanganda yennyamidde olw’ennyambala embi eyitiridde mu basiraamu nga kumpi kati bayita bukunya.

Muzanganda okwogera bino abadde asisinkanye abasiraamu be Mbuya n’ategeeza nga  abantu bwebavudde ku mulamwa gw’obwa Katonda ky’agamba nti kimenya mateeka era kiva ku mulamwa gw’obwa Katonda.

Awadde eky’okulabirako eky’abavubuka abagenda mu maduuka g’engoye nebagulayo engoye ezimanyiddwa nga zi ‘’damage’’ n’ategeeza nga zino bwezitaweesa bvubuka bano kitiibwa.

Ategezezza nti engeri gyetugenda mu kiseera ky’ekisiibo kya Ramadhan, abasiraamu bandibadde bakozesa ekiseera kino okwezza obuggya olwo batuuke mu mwezi gwa Ramadhan nga balongoofu.

Asabye abazadde okufaayo ennyo ku baana baabwe nga bakyali baton ga bwebabalambika mu kkubo eggolokofu ery’obwaKatonda olwo abaana bakule nga balina ensa.

Muzanganda akuutidde abaziraamu okuyitiriza okusoma ekitabo ekitukuvu ekya Quran kubanga kiyambako mu kulunngamya webabeera basobye wamu n’okufunamu empeera.

Ategezezza nti abantu bawa amasimu gaabwe obudde bungi olwo nebeerabira emirimu gyebalina okukola ky’agamba nti kikyamu.

Asabye abasiraamu bonna okwekolamu omulimu nga bakola ebyo byonna enzikiriza by’eragira